Kozesa Ekisiibo okutule enjegere ezikusibye
Mar 28, 2023
BWANAMUKULU w’e Lubaga, Fr. Achilles Mayanja akubirizza Abakristu okukozesa ekisiibo kino bakutule enjegere sitaani ze yabasiba edda, basobole okuwonaokuzikirira.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Lawrence Kizito
BWANAMUKULU w’e Lubaga, Fr. Achilles Mayanja akubirizza Abakristu okukozesa ekisiibo kino bakutule enjegere sitaani ze yabasiba edda, basobole okuwona
okuzikirira.
Mayanja agamba nti obulamu bw’Abakristu bangi bujjudde ebikolwa ebitali bya Bwakatonda ate ng’abamu bye bibabeezaawo, nga mwe bajja n’eky’okulya era wadde bakimanyi nti bikolwa bikyamu naye bakaluubirizibwa okubireka.
Yawadde eky’okulabirako ky’abantu abaamanyiira obubbi nga mwe bafuna ekyokulya okugeza ng’ababba amabaati g’abantu b’e Karamoja, n’agamba nti abalala bwe batalya ku nguzi bawulira bubi era emirimu gibalema okukola.
Yagasseeko nti waliwo n’abamu ng’obwenzi bwabasiba enkalu era nga kwe batambulira, wadde nga bakimanyi nti emize gino gyonna gikontana n’amateeka ga Katonda.
Yawadde Abakristu amagezi okulwana ennyo beekwate ku Katonda era bamwegayirire abayambeko mu kwegobako emize gino, kubanga Katonda alina amaanyi n’obusobozi okuggyawo ebikoligo byonna ebiremesa omwana w’omuntu okutambulira
mu kkubo eggolokofu.
Singa ekisiibo kiggwaako nga abali mu buwambe bwa sitaani tebalokose, Mayanja yagambye nti bajja kuba basiibidde bwereere, ate nga gwe mukisa gwe balinawo okukyusa obulamu n’okwenenya.
No Comment