Okulundira engege mu butimba kukyusizza obulamu e Namayingo
Nov 28, 2022
BW’OBA oyolekedde omwalo gw’e Bugali mu Town Council y’e Mutumba, olengera obutimb mu mazzi. Zino ze kkeegi z’ebyennyanja, engege n’empuuta ebirundirwa mu butimba mu nnyanja Nnalubaale mu disitulikiti y’e Namayingo.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Tom Gwebayanga
BW’OBA oyolekedde omwalo gw’e Bugali mu Town Council y’e Mutumba, olengera obutimb mu mazzi. Zino ze kkeegi z’ebyennyanja, engege n’empuuta ebirundirwa mu butimba mu nnyanja Nnalubaale mu disitulikiti y’e Namayingo.
Pulojekiti eno eyitibwa NAYUKU Cage Fishing Limited, nga yatandika mu ngeri ya kugezesa naye kati esimbye amakanda.
Ewadde abantu abasoba mu 260 emirimu egikyusizza obulamu bwabwe.
Pulojekiti eno mu kusooka yali mu kugezesa n’ekigendererwa eky’okuliisa obuvanjuba bwa Afirika nga yajjira ku mulamwa ogugamba nti “Feeding East Africa” ng’abaagireeta baagiteekamu bbiriyooni bbiri n’ekitundu.
Eno efudde omwalo gw’e Bugali entabiro ya bizinensi olwa ssente ezigenda mu bakozi, abasuubula engege ne bazitwala mu butale, ng’ate n’endya yaabwe nayo bw’erongooka kuba abatuuze tebakyalya maluma.
Engege zino zitundibwa mu Kampala, Nairobi ne South Sudan okusinziira ku maneja wa ffaamu, Justine Ojambo.
Ng’oggyeeko ebyo, pulojekiti yafuuka kya bulambuzi olw’abantu n’ebibiina eby’obwegassi abagenda okulaba n’okusoma envuba ey’omulembe, era abamu oluddayo ne bateeka mu nkola bye basomye.
Abakozi balabirira kkeegi, okuliisa ebyennyanja n’emmere y’obuweke (pellets) wamu n’obuwunga, okulawuna ennyanja okutangira ababbi n’ebirala.
NAYUKU Cage Fishing Ltd etudde ku yiika z’amazzi 8 -10 ne kkeegi ezisoba mu 600. Dayirekita waayo musajja Mudaaki, nga ye Robert Van Espelo, eyajja okugezesa envuba ya kkeegi naye gye bikkidde nga pulojekiti ekoze bulungi. Ng’oggyeeko okuwa abantu emirimu n’okuyiwamu emisaala Espelo afuna ssente eziri mu bbiriyooni.
Kkeegi zino gaggadde, buli emu ebeeramu engege 37,000, ekitegeeza nti, kkeegi 100 bwe zikungulwa, baba balina engege obukadde busatu n’emitwalo nsanvu. Zikula okutuuka ku kkiro bbiri ku ssatu ekitwala emyezi esatu ku ena.
ABATUUZE N’ABAKOZI BOOGEDDE
UPDF bwe yazingako ennyanja ng’efuuza ab’envuba embi era n’ebookera obutimba bwabwe ne basigala nga beemagaza, ekikubagizo baakizuula mu NAYUKU ebbudde abavubi bano abaagobwa ku nnyanja. Ate omuggalo gwa ssennyiga omukambwe bwe gwajja, ne gujabagira. Bano abaakosebwa, olw’obumanyirivu bwe baalina, pulojekiti olwazze ne bafuna emirimu.
Mmeeya wa Mutumba T/C, Patrick Ogeni, agamba nti, enfuna y’abakozi yatereeramu era basobola okulabirira ffamire, okusasula amabanja n’okuterekako akasente akatono.
Emilly Namaganda, akola mu pulojekiti eno agamba nti: Obulamu bwange bwakyuka era taata w’abaana w’ajjira nga nze ebimu mbikozeeko.
Ezimu nzitereka mu kibiina kye twakola ku kyalo endala ne zikola mu by’awaka okuli ne ffiizi”.
Ebimu Ku Byennyanja Ebisibiddwa Mu Biveera Mwe Bitundirwa.
KKEEGI Z’AWA ABANTU EMIRIMU
Omubaka wa Pulezidenti e Namayingo, Capt Yahaya Kakooza, yagambye nti, kkeegi z’awa bangi emirimu okuli aba wooteeri, abasuubuzi ab’amaduuka, ab’engege, abatunda amafuta ag’ebidduka n’abalala baganyuddwa.
Akulira eby’obuvubi e Namayingo, Fred Igoma yagambye nti, kkeegi zijjidde mu kiseera ekituufu kuba ennyanja yaggwaamu ebyennyanja.
Ng’oggyeeko obulamu bw’abantu okukyuka, NAYUKU yabasimira nayikonto, okuzimba n’okuddaabiriza amasomero n’amalwaliro aga gavumenti.
Mmeeya Ogeni agamba nti NAYUKU yakendeeza ku bbula ly’emirimu, kuba abavubuka abaalibadde mu matatu ne ludo n’okukola effujjo, ne bassemaka abaalisiibye awaka okuyomba n’abakazi, basiiba bakola.
AKATALE
Maneja Ojambo agamba nti, akatale ka buliwo era engege bazikungulira ku wooda. Ku mwalo baazimbawo sitoowa ne konteyina za ayisi ate okwongera ku mutindo, engege bazisiba mu buveera obugumu.
Dayirekita Robert Van Espelo
ENTANDIKWA YA PULOJEKITI
Pulojekiti yatandika mu 2019 era Dayirekita Robert Van Espelo ne maneja Justine Ojambo baasooka kufuna satifikeeti y’ekitongole kya National Environment Management Authority (NEMA).
Espelo agamba nti, abakugu baasooka kwekebejja amazzi agasaanira ne basibira ku g’e Lufude.
Obwennyanja obuto babugula mu kkampuni Minisitule y’ebyobuvubi gye yakakasa, we yava okuwandiisa abakozi 250.
Agamba nti, ku ngege 100, ttaano (5) zokka ze zifa ekitegeeza nti, 95 zikula ne zifuuka ssente.
“Omwezi tufuna obukadde 250,” Espero bwe yagambye, n’agattako nti, buli w’abeera akunga abalina ssente bamweyungeko bafune ssente. Abakozi abasasula wakati wa 50,000/- ne 550,000/- okusinziira ku mirimu gye bakola.
ENDIISA, TEKINOLOGIYA N’OBUKUUMI
Mu kaweefube w’okulunda engege empoomu, abakozi bayigga ebisaaniiko mu bibuga ne mu butale, okwongereza ku mmere yaazo.
Ojambo agamba nti, bwe bisuulibwa mu kkeegi mu nnyanja bivunda n’okufuuka emmere ey’ekiriisa ekikuza engege ku sipiidi.” Mu kifo ekya mukene aseerebwa, ensowera zikola bulungi, Ojambo bw’agamba, n’agattako nti, balina tekinologiya alondoba engege ensajja zokka nga ze zissibwa mu kkeegi.
Espelo agamba nti, bizinesi nnungi kuba ng’ogyeeko emmere, engege tezitera kulwala.
Okwewala ababbi, kkamera baazisiba ku bikondo bya kkeegi, era omubbi w’azikwatirako nga zaaloopye dda. Ekiro wabaawo abakozi abalawunira mu maato okutangira obubbi.
OKUSOOMOOZEBWA
Ebbeeyi y’ebyuma okuli n’okubituusa okuva e China, ebbula ly’abakugu ababyokya, bye bimu ku bisoomooza. Ekirala, obubbi bw’engege naddala mu budde bw’ekiro, nga n’olussi enkwe zipangibwa bakozi.
PULAANI Z’OMU MAASO
Espelo asuubira okwongeramu ssente emirundi esatu, ng’omwaka ogumu asibira mu bbiriyooni 10. Ekiruubirirwa kye kya kuliisa Afrika, amawanga ga Afrika, Bulaaya ne Asia.
ROBERT VAN ESPELO Y’ANI?
Musuubuzi enzaalwa y’e Budaaki. Alina bizinensi mu Bulaaya ne Amerika, ng’ate mukugu mu bya kompyuta era ayiiyiza w’omukutu gwa yintaneeti gwe bayita ‘Oracle Search Engine’ ku Google.
No Comment