Ayagala okukola amagoba mu kulunda ebyennyanja kola bino wammanga

Dec 29, 2022

ANOONYA okufuna mu bulunzi bw’ebyennyanja, kakasa nti ssente z’okugula emmere tezisukka bbeeyi ya kkiro ya byennyanja ku katale.

NewVision Reporter
@NewVision

Amagezi gano gabaweebwa, Joseph Mukalazi omulunzi w’ebyennyanja ku Grace Fish farm e Ndejje mu Luweero agamba nti okufuna ssente mu byennyanja omulunzi yenna ateekeddwa okumanya bbeeyi y’emmere ate n’ebyennyanja ku katale kuba eky’ennyanja okukula kiweze kkiro emu, kibeera kiridde kkiro y’emmere.

“Amagoba mu by’ennyanja gabeerawo nnyo ng’emmere eri wansi. Kkiro y’engege ku katale egula 7,500/- ate emmale 5,000/- ku 5,500/-, nga singa kkiro y’emmere etuuka mu 7,000/- n’okudda waggulu obeera okulera ku loosi,” bw’agamba.

Abalunzi b'ebyennyanja nga basudde akatimba okutega.

Abalunzi b'ebyennyanja nga basudde akatimba okutega.

Mukalazi annyonnyola nti emmere etabuddwa okukola obulungi, ekidiba kirina okuba nga kiteereddwaamu enkonge (okugimusa) emala. Kino kikolebwa ng’ossaamu kalimbwe w’enkoko naddala ennansi.

Agamba nti bw’obeera ogenda kukola mmere ya buweke, oluvannyuma lw’okutabula bino byonna, tabulamu butto w’ebyennyanja nga ono atangira amazzi okuyingira akaweke kasebbuuke.

 Ssaamu obuwunga bwa muwogo nga buno Bukola nga nkwanso ebirungo byonna byekwate wamu. Byonna bitabule bulungi n’oluvannyuma okozese amazzi agabugumna.

Ekyuma ekikola obuweke, kigula wakati w’obukadde bubiri n’ekitundu n’obusatu. Mukalazi awa abalunzi amagezi okwekolamu ebibiina basobole okukolera awamu gamba mu kugula ebyuma nga bino kuba singa abalunzi nga kkumi beegatta basobola okukigula olwo ne bakozesa mu mpalo ne basobola okukekkereza ensaasaanya ku mmere.

 Wano emmere esobola okugweera nga ku 2,800/-. Okusobola okukendeeza ensaasaanya ku mmere, osobola okulunda enswera ekika kya black soldier flies, mw’osobola okufuna envunyu nga zino zibeeramu puloteyini mungi.

Zino bw’obeera waakuziriisa ngege liziwe nga mbisi kuba zo ziriira mu mazzi ate emmale sooka kuzikaza kuba ziriira waggulu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});