Ebirungi by'okugezesa mmotoka eva okukanikibwa
Apr 29, 2025
BULI kidduka omuli n’ekipya kituuka ekiseera ne kyonooneka nga kyetaaga okukanikibwa ne kitereera. Wabula kyamakulu okusooka okukigezesa okulaba oba kiteredde bulungi kireme kukuleetera buzibu ng’ovuga.

NewVision Reporter
@NewVision
BULI kidduka omuli n’ekipya kituuka ekiseera ne kyonooneka nga kyetaaga okukanikibwa ne kitereera. Wabula kyamakulu okusooka okukigezesa okulaba oba kiteredde bulungi kireme kukuleetera buzibu ng’ovuga.
Ying. Emmanuel Aleti, owa poliisi eyeekebejja ebidduka eya Inspector of Motor Vehicles (IOV) e Naguru mu Kampala agamba nti kyabulabe eri ddereeva okukanika ekidduka ate n’atakigezesa okukakasa oba ebikoleddwa biteredde bulungi.
“Nnyingi ku mmotoka eziba zivudde mu ggalagi zifuna obuzibu oluusi nga buva ku nsobi ez’obuntu ezikolebwa bamakanika oba ebyuma ebiteereddwamu nga byabadde bikyamu oba nga biteereddwaamu bubi.
Kino osobola okukimanya ng’oyise mu kusooka okugigezesa nga tonnayingira kkubo,” Aleti bw’agamba.
Micheal Musiitwa, omusuubuzi wa sipeeya ewa Kisekka agamba nti obuzibu businga kuva ku bamakanika, oluvannyuma lw’okukola ebyo bye balaba nti bya maanyi ne balekera abaana okumaliriza oluusi ne bakola ensobi ez’obuntu omuli obutanyweza nnatti.
Oluusi oyinza okuba nga wagula sipeeya omucupule ng’oguze ekigulu kya mmotoka ekyakaddiwa nga kyafuuyirwa langi mu nkola ya (Kanaabe) okukifuuka ekya Japan omukadde. Bino byonna okubitegeera obulungi nti biteredde olina kugezesa.
No Comment