Obulabe obuli mu kuteeka ebintu ku Dash Board yo

Apr 29, 2025

ABAMU ku b’ebidduka dashboard bazitona n’ebintu eby’enjawulo omuli ebyoya n’emikuufu egirengejjera wansi w’endabirwamu eragirira ddereeva okubirabisa obulungi.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAMU ku b’ebidduka dashboard bazitona n’ebintu eby’enjawulo omuli ebyoya n’emikuufu egirengejjera wansi w’endabirwamu eragirira ddereeva okubirabisa obulungi.

Abalala bawummulizaako ebintu eby’enjawulo omuli engoye, enkoofiira, ssweeta, obucupa bw’amazzi, ebitabo, amasimu, n’ebirala. Abamu bino babikola lwa malidaadi ate abalala lwa butamanya bulabe bukivaamu.

Paul Kwamusi, omulwanirizi w’obutebenkevu ku nguudo era nga y’akulira ekitongole kya Integrated Transport Services agamba nti kyabulabe dashboard ya mmotoka okuteekebwako ebintu. 

Mmotoka bw’etabuka, ebintu ebiri ku dashboard biziyiza ddereeva okukola okusalawo okutuufu ku gy’alina okudda. Obucupa buyinza okugwa wansi w’ebiziyiza ddereeva agenda okubirinnyako nga tesiba. 

Mu mbeera y’emu, ebimu ku bintu bino omuli amasimu, perfume n’ebirala bwe byakako omusana omungi biyinza okubwatuka nga bbomu ne bikola obulabe ku bali mu mmotoka oba ddereeva okukola akabenje ng’abadde avuga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});