Ennunda y 'ebyennyanja ekuwa amagoba agawera
Jan 29, 2024
BIZINENSI y’ebyennyanja ekwata kifo kya ku mwanjo mu bizinensi eziyingiriza Uganda ssente okuva mu mawanga ag’ebweru.

NewVision Reporter
@NewVision
BIZINENSI y’ebyennyanja ekwata kifo kya ku mwanjo mu bizinensi eziyingiriza Uganda ssente okuva mu mawanga ag’ebweru. Okusinziira ku bibalo mu minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi, ebyennyanja biyingiza ebitundu 3 ku 100 eby’ennyingiza y’eggwanga ey’omugatte ate ne biyingiza ebitundu 12 ku 100 eby’ennyingiza eva mu bulimi n’obulunzi.
Wadde nga Uganda erimu ebika by’ebyennyanja ebisoba mu 500, empuuta n’engege by’ebika ebisinga okubeera eby’ettunzi ng’empuuta etwala ebitundu 46 ku 100 ate engege ne zitwala ebitundu 38 ku 100.
Ebyennyanja bikulira mu mazzi agatwala ebitundu 18 ku 100 eby’obugazi bwa Uganda. Anthony Tabu Munyaho omukugu mu by’okulunda ebyennyanja akola n’ekitongole ekinoonyereza ku by’ebyennyanja ekya National Fisheries Resources Research Institute (NaFIRRI), agamba nti, abakugu balaga nti, ebyennyanja by’ebisinga ebiriisa ebitalina bulabe eri bulamu bwa muntu naddala ekirungo kya Omega 3.
Kigambibwa nti, Uganda erimu abalunzi b’ebyennyanja abasoba mu 20,000 nga bakungula ttani ezisoba mu 120,000 okuva mu bidiba ebisoba mu 25,000 ne keegi ezisoba mu 3,000 ku nnyanja za Uganda naddala Victoria.
Mu Uganda engege, emmale n’ensonzi by’ebika ebisinga okulundibwa mu bidiba ate ne mu keegi ezissibwa ku nnyanja ennene.
OKULUNDIRA MU BIDIBA
“Okusooka osaana okwebuuza ku bakugu baffe ng’olonda ekifo w’ogenda okussa ffaamu wadde ng’ogenda kusima ebidiba ng’otunuulira obungi bw’amazzi, embeera y’obudde, obuyonjo bw’ekitunda n’ebirala,” Munyaho bw’agamba.
Okufuna ebika ebirungi by’ogenda okulunda kikulu kuba
20 Bukedde
Mmande January 29, 2024
singa ofuna ebika ebitakula ne bw’obiriisa obulungi oyinza obutafuna kituufu. Mu kifo kyabwe e Kajjansi bafulumya ebyennyanja ebisobola okussaako gulaamu 2.8 buli lunaku nga kino kitegeeza nti, ogenda kufunamu ate mu bwangu.
Joseph Mukalazi, omulunzi w’ebyennyanja ku Grace Fish farm e Ndejje mu Luweero, agamba nti, okufuna ssente mu byennyanja omulunzi yenna ateekeddwa okumanya bbeeyi y’emmere ate n’ebyennyanja ku katale kuba ekyennyanja okukula kiweze kkiro emu, kibeera kiridde kkiro y’emmere.
“Amagoba mu byennyanja gabeerawo nnyo ng’emmere eri wansi. Kkiro y’engege ku katale egula 7,500/- ate emmale 5,000/- ku 5,500/-, nga singa kkiro y’emmere etuuka mu 7,000/- n’okudda waggulu obeera okolera ku loosi,” Munyaho bw’agamba.
ENDIISA ENTUUFU
Ivo Van der Lee, omukugu mu ndiisa y’ebyennyanja okuva e Budaaki bwe yabadde asomesa mu musomo ogwalagiddwa ku BUKEDDE TV1 ku Mmande ogwasomeserezeddwamu aba Koudijs abakola emmere y’ebyennyanja, yategeezezza nti, waliwo ebirina okutunuulirwa omuntu alunda ebyennyanja okusobola okufunamu mu ffaamu ye, omuli:Sayizi y’emmere: Ebyennyanja birina okuliisibwa emmere y’empeke entono ddala okusinga eriiso lyakyo. Kino kiri bwekiti kuba singa emmere ebeere ennene eyinza okubituga ne bifa oba okubiremerera okulya ne bifa enjala.
l Ebiseera by’okuliisa: Ekyennyanja kirya emmere ezitowa ebitundu 20 ku 100 eby’obuzito bwakyo. Emmere eno gyawulemu emirundi esatu egyenkana kuba bigabirirwa emirundi esatu olunaku naye byetaaga wagazi byonna okulya obulungi, ate n’obiwa nga waliyo akabugumu naddala engege.
l Omuwendo mu kidiba: Wadde ng’oyagala okufuna ekiwera tossa byennyanja bingi mu kidiba kuba kikendeeza omukka ogussibwa mu mazzi ate n’okulwanira emmere olwo ne bitakkuta. N’olwekyo buli mita egendamu ebyennyanja (engege) 2-3 ate abali mu keegi buli mita mu mazzi egendamu wakati w’ebyennyanja 80 ne 120.
l Omutindo gw’amazzi: Amazzi ge maka ebyennyanja we bikulira era galina kubeera ga mutindo nga tegaliimu bucaafu, ebiragala gamba ng’ebiva mu makolero ebiyiibwa mu nnyanja, enkonge n’ebirala.
l Amabanga: Eri abalundira mu keegi, genderera amabanga gooleka wakati wa keegi emu okutuuka ku ndala. Okufuutiika keegi zo kigenda kuvaako amazzi okucafuwala.
l Okukozesa emmere obulungi: Wano atunuulira obungi bw’emmere ekyennyanja bwekirya okukuwa obungi bw’ennyama. Pima ebyennyanja byo buli luvannyuma lwa wiiki bbiri nga tebinnaweza gulaamu 500 ate bwe bisukka awo bipimebuli mwezi.
l Okukuuma ebiwandiiko: Kikulu okuwandiika buli kikolebwa ku ffaamu okuli obungi obwassibwa mu kidiba oba keegi, ebifudde, obuzito, emmere gye birya, obuyonjo bw’amazzi, enkyukakyuka y’obudde gamba enkuba lw’etonnya n’ebirala. Kino kigenda ku kuyamba okulondoola enkola ya ffaamu kyokka n’okwewala ensobi z’okoze ku mulundi oguddako.
l Olulimi ly’ebyennyanja: Ebyennyanja byo bisobola okukutegeeza embeera gye birimu singa obiwa obudde okubitegeera. Okugeza singa obudde bw’okulya butuuka bijja kungulu, singa obiwa emmere nga bwe wagipimye ne bisigala nga bikyetalira ku ngulu, kitegeeza tebikkuse
BY’OGOBERERA OKUFUNA KEEGI
Munyaho agamba nti, enkola y’okulunda ebyennyanja mu butimba ku nnyanja yatandika mu 2006 n’obutimba 50 mu pulojekiti ya Source of the Nile Cage Fish farm eyassibwamu ssente ekitongole kya USAID. Leero Uganda erimu obutimba obusoba mu 10,000.
Agamba nti, okusobola okuweebwa olukusa okulunda ebyennyanja olina okusooka okukola okunoonyereza ku ngeri gye kisobola okukosa ebikolebwa n’abalala abakozesa ennyanja.
Mu ngeri y’emu obungi bw’amazzi, omukka ogussibwa n’ebirala birina okutunuulirwa olwo lipooti n’ogitwala mu NEMA okukuwa empapula z’otwala mu minisitule y’obuvubi ekuwa olukusa okussa keegi ku nnyanja mu kifo ky’osabye.
No Comment