Wuuno omukazi alojja ennaku y'obupangisa
Nov 03, 2021
ENNAKU y’okupangisa buli omu agirojja lulwe ng’abamu batuuka n’okugamba nti bw’owona obupangisa oba owonye bulwadde nga Shamira Nakwejjwe 27 bw’annyonnyola:

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Moses Lemisa
ENNAKU y’okupangisa buli omu agirojja lulwe ng’abamu batuuka n’okugamba nti bw’owona obupangisa oba owonye bulwadde nga Shamira Nakwejjwe 27 bw’annyonnyola:
Mbadde mpangisa mu Ssebaggala Zooni e Kawempe wabula ababbi banziba ku ntandikwa y’omwezi oguwedde ne baatwala buli kintu ekyampalirizza okufuna enju endala nsengukewo nga ntya nti nnyinza okuddamu okugula ebintu ebirala ne baddamu okunziba.
Bulooka w’amayumba mu Ssebina Zooni ku Kaleerwe yantwala n’andaga nnannyini mayumba ng’enju eyali yali temuli semiti n’endabirwamu mu luggi wadde mu madirisa.
Omukyala nnannyini zo yansaba 260,000/ okugirongoosa n’ampa ennaku ssatu naye kati tugenda mu mwezi enju tagirongoosanga.
Ensonga nazitutte ku LC y’omu kitundu n’entegeeza nti omukyala oyo nabo bamutya si mwangu ne bansindika ku poliisi bwe yayitiddwa yagambye nti ye amanyi amateeka mugumiikirize ssente bw’aliba azifunye alinkubira essimu, simanyi kiddako kuba nnannyini mayumba gye mbadde nsula yampa omwezi gumu guweddeko angamba muviire .
Mbadde nnina Hard Ware gye nkolera bangobye kuba mbadde neewuuba okulaba enju oba yawedde.
Nsaba bannannyini mayumba agapangisibwa okuwa abapangisa ekitiibwa kubanga we batali, tebasobola kufuna ssente. Kati nze sirina yadde ennusu ssente zange yazitwala agaanyi okuzinziriza .
No Comment