Ennima y'obummonde ey'omulembe mu Buganda

Jan 05, 2022

OBUMMONDE mmere erina akatale ekiseera kyonna olw’okuba nti bukozesebwa mu bintu eby’enjawulo ate nga ne mu maka buliibwa.

NewVision Reporter
@NewVision

Wabula, obummonde bumanyiddwa kulimirwa mu bitundu bya nsozi n’obunnyogovu gamba Kabaale, Mbale, Kisoro n’ebirala wabula butandise okulimwa mu Buganda mu bitundu bya Rakai.

Patrick Tumwesigye, omulimi w’obummonde ku kyalo Kijjako mu ggombolola y’e Lwamaggwa mu disitulikiti y’e Rakai agamba nti obummonde bizinensi efuna ssinga omanya ky’oteekeddwa okukola ate nga si by’amaanyi.

“Nasalawo okulima akammonde kuba kalina akatale essaawa yonna ate nga kafuna nti ne bw’otafuna magoba mangi waakiri osobola okufuna ssente z’otaddemu, kangu kaakulima ate nga kakula mangu anti kakulira mu myezi esatu gyokka ate nga bulimu ssente”, bw’agamba.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});