Bakubiriziddwa ku bukulu b'ennimi mu nkulaakulana
Jan 18, 2022
Bannannimi bali mu keetereekerero okujaguza wiki y’ennimi Enfirika ng’ebikujjuko byakwetabwako amawanga ag’enjawulo okuva mu Afirika era nga byakubeera ku mutimbagano okuyita ku mukutu gwa Zoom.

NewVision Reporter
@NewVision
Wiiki y’ennimi ennansi yatongozebwa mu July wa 2021 mu Ouagadougou- Burkina Faso, ng’ebeerawo okuva 24-30 January era yaakujagulizibwanga amawanga gonna agali mu mukago gwa African Union. Omwaka guno omulamwa guli African Languages: Levers for the Africa we want ekiyinza okuvvuunulwa nti Ennimi ennansi nnamuziga etutuusa ku Afirika gye twagala.
Ebikujjuko ebikulu byakubeera ku mutimbagano ku mukutu gwa Zoom nga byakwogererwako n’okwolesezaako ebintu eby’enjawulo ebiraga obukulu bw’ennimi n’ebyobuwangwa mu nkulaakulana ya Afirika.
Kyokka bonna abakwatibwako ennimi n’ebyobuwangwa bakubirizibwa okutegeka eyo gye bali emyoleso egiraga enkulaakulana etuukiddwaako okuyita mu nnimi n’ebyobuwangwa.
Bukedde olupapula, Tivvi zombie eza Bukedde ne leediyo ya Bukedde gye gimu ku mikutu gy’empuliziganya mu nnimi ennansi egifulumizibwa Vision Group egikoze ekinene okutumbula enkulaakulana y’omuntu wa bulijjo nga bayita mu biweerezebwa ku mikutu gino nga Enkumbi Terimba, Yiiya ssente, Asiika Obulamu, Essomero n’ebirala.
Emikutu gya Vision Group emirala egiweereza mu nnimi ennansi kuliko TV West, Radio West nga giweereza mu nnimi z’obugwanjuba bwa Uganda, TV East ey’obuvanjuba, Arua One, leediyo mu Arua, Tivvi ya WanLuo ne Radio Rupiny.
Margaret Nankinga, omu ku bali ku kakiiko akateesiteesi akawiiki eno mu ACALAN nga y’akiikirira Uganda akubirizza bonna bannannimi n’abakola ku byobuwangwa okulaga ennimi n’ebyobuwangwa bya Uganda kye bikola okutumbula enkulaakulana mu Uganda.
Mu kiseera kino abantu batandise okukubaganya ebirowoozo nga beebuuza nti Afirika gye twagala efaanana etya? Naawe weetaba mu kukubaganya ebirowoozo wano ng’owa endowooza yo: AFIRIKA GY’OYAGALA EFAANANA ETYA?
No Comment