Kola dduyiro weegobeko ennyama eyiikayiika ku mikono

Feb 08, 2022

ABANTU abamu bwe bakula mu myaka, batera okufuna ennyama ku mikono eyiikayiika kyokka ng’omuntu atambula n’omulembe, alina okugyewala.

NewVision Reporter
@NewVision

Ekimu ku bireeta ennyama eno y’oku mikono okuyiikayiika, lwe lususu lw’oku mubiri olugenda nga lulemererwa okwekwata awamu, ng’omuntu akuliridde. Kyokka era waliwo abayiikayiika ennyama eno nga kivudde ku mubiri okulemwa okufulumya obusimo bw’omubiri obw’ekigero.

Nga bwe kiri bwe kityo, eriyo ebika bya dduyiro ebitali bimu, omuntu by’asobola okukola okwewala oba okuwona ennyama y’oku mikono eyiiseyiise. Ekimu ku byo, ye y’okukutama nga bw’ositudde akazito (Bent Over Row). Omukutu gw’okukola dduyiro ogwa https://www.stylecraze.com/articles/4-best-home-exercises-for-those-flabby-arms/ gulaze engeri bw’oyinza okukikola.

Omu ku bika bya dduyiro akendeeza amasavu mu mikono

Omu ku bika bya dduyiro akendeeza amasavu mu mikono

Okikola otya?

  1. Ofuna obuzito bubiri bw’okwata mu mikono gyo ebiri. Ku ntandikwa, fuba okulaba ng’ofuna obuzito obusaamusaamu obutaakumenye ate kwetamwa.
  2. Sooka oyimirira buwanvu ng’amagulu go ogaawudde, okwenkanankana obugazi bw’ebibegaabega byo.
  3. Kutamamu mu maaso katono, naye kakasa nti omugongo gwo gwegolodde bulungi.
  4. Amaviivi nago gakutamyeko naye ng’obugere bwo bwegolodde bulungi ku ttaka ng’omutwe gwo nagwo gwegolodde bulungi.
  5. Akakokola ko kakasa nti kali kumpi n’omubiri gwo.
  6. Obuzito bwo, obeera obusitudde nga bulinga obuli ku maviivi.
  7. Situla obuzito bwo obuli okumpi n’amaviivi, ng’obuzza okumpi n’ekifuba kyo. Ng’okola kino, emisuwa gy’omu mugongo gyesiba era ne gibeera migumu.
  8. Obuzito buggye ku kifuba obeere ng’obussa ku maviivi ate obuzzeeyo ku kifuba (si kubutuuzaako wabula kubutuusaawo nga bw’obuggyawo)
  9. Kino kikole ng’okiddiring’ana emirundi nga 20.

Jjukira, eriyo ebika bya dduyiro eby’enjawulo ebisobola okukuyamba okukendeeza ku nnyama y’oku mukono eyiikayiika era kino, tukuwaddeko ekika kimu naye ng’onookitandika, weegendereze obutasitula bizitowa nnyo ate binaakukuba magulu. Beera munyiikivu kuba tosobola kukikola omulundi gumu mu mwezi, n’olowooza nti onoofuna ky’oyagala.

Bino bikulu;

-- Jjukira, abakugu bakubiriza omuntu okukola dduyiro waakiri emirundi 4 mu wiiki bw’oba onoofuna ky’oyagala okutuukako.

- Eyaakatandika okukola dduyiro, tandika n’eddakiika ntono ogende ng’oyongeza mpolampola buli lunaku lw’okola.

- Weebuuze ku mukugu ku kika kya dduyiro ky’osobola okukola okusinziira ku ky’oyogala omubiri gwo gubeere.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});