Omulunzi w'ente yiino engeri gy'okola ssente mu kasasiro
Mar 09, 2022
OKULUNDA ente z’amata bizinensi efuna wabula bangi balemererwa ne batuuka okuzivaako n’okugamba nti ente naddala ez’omu kiyumba za buweere okulabirira olw’obutamanya ngeri nnyangu gye basobola kuziriisa.

NewVision Reporter
@NewVision
Dr. Jolly Kabirizi, omulunzi w’ente z’omu kiyumba ku Kyaguwa Farm e Sekugu era omukugu mu ndiisa y’ensolo eyawummula okuva mu kitingole ekinoonyereza ku by’endiisa y’ensolo mu ggwanga ekya National Livestock Resources Research Institute (NaLIRRI), agamba nti eddundiro ly’ente z’amata erikola amagoba, omulunzi alina okufuna ennyana buli mwaka alina okukama ente ennaku nga 305 omwaka.
Abakyala abakola ne Dr. Jolly nga basunsula ebisusunku okukola emmere y'ente.
“Endiisa y’ente kikulu nnyo era kino kye kigenda okukuwa amagoba oba okukuviirako okufiirizibwa. Ekikulu si kuliisa nte muddo oba mmere nnyingi wadde ey’ebbeeyi, wabula okumanya ebirungo ente bye yeetaaga n’engeri gy’osobola okubigiwa”, Dr. Kabirizi bw’agamba.
Mu musomo gw’okulunda ente mu mwoleso gwa Harvest Money Expo ogugenda okubeera e Kololo ku kisaawe ky’ennyonyi agenda kusomesa abalunzi b’ente engeri y’okukola emmere eriisibwa ente okuva mu ‘kasasiro’ omulunzi n’asobola okukendeeza ku nsaasaanya mu ssente z’okugula omuddo n’emmere y’okuliisa ente zo olwo amagoba ne geeyongera.
Ono agenda kusomesa: Okukola emmere okuva mu kasasiro w’ebirime gamba ng’ebisoolisooli, ebitemeddwako omucceere, amalagala ga lumonde, ebikuta by’amatooke ne kalimbwe.
Mu ngeri y’emu tubeera ne kasasiro avudde mu makolero ng’ebikanja, ebisusunku by’ebikajjo, sukaali ggulu, bulandi wa kasooli, omuceere n’eng’ano.
Okukola sayireegi mu malagala, Sayiragi (Heylage) mu bisoolisooli era osobola okukolamu peletisi (emmere y’obuweke), okubireleka ng’omuddo omukalu oba okukolamu bulooka eriibwa ente.
Okukozesa ebikuta by’amatooke, okukozesa ebisusunku by’ebikajjo, okukozesa kalimbwe, Sayireegi w’ekikanja by’omwenge n’ebirala nga ne bw’obeera tolina nte osobola okugitandika nga bizinensi n’oguzanga abalunzi.
No Comment