Alambise abakkiriza ku birungi ebiri mu kusaba mu kasirise mu kisiibo kino

Mar 15, 2022

ABAKKIRIZA baweereddwa amagezi ku ngeri gye basobola okuwuliziganyaamu ne Katonda naddala mu budde buno obw'ekisiibo olwo asobole okubalambika ku ngeri gy'ayagala batambuzeemu obulamu bwabwe obw'omwoyo n'obw'omubiri mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa. 

NewVision Reporter
@NewVision

Bano balina okufuna akadde akamala ne basiriikiririra okuwuliriza Katonda era nebalowooza ku ngeri gyebatambuzaamu obulamu bwabwe oba esanyusa Katonda oba nedda.

 

Bino byogeddwa Rev. David Sserwadda Ssaalongo akulira ow’Ekkanisa ya St. Johns e Kamwokya mu bubaka bw'awade abakkiriza ku ngeri gye balina okweyisaamu mu kisiibo ate n'okukifunamu.

 

 

Rev. Sserwadda agamba nti ssinga omukkiriza oba ayagala Katonda ayogere naawe ku ngeri gy'ayagala atambuzeemu obulamu, olina ku kikola ng'osaba mu kasirise, ssinga osirika n'olowooza ku ngeri gy'otambuzaamu obulamu, Katonda asobola okwogera nawe.

 

Bw’omala okwebuulira n'omanya w'obadde owaba, saba Katoda akuwe amaanyi osobole okwewala emize emibi bw’otyo osobole okutambulira mu kkubo ettuufu.

 

Wabula ssinga tofuna kadde kasiriikirira, oyinza obutamanya Katonda ky'ayagala okole. Yayongeddeko n’agamba nti Yesu bwe yali asiiba ennaku amakumi ana yali mu ddungu nga yeegayirira, ekitegeeza nti atwala obudde n'asiriikiriza n'awuliziganya ne kitaawe.

 

Kino kitegeeza nti naffe tulina okufuna akadde naddala mu budde buno obw'ekisiibo, tusiriikirire tuwulirize Katonda atulage ekituufu kye tulina okukola olwo naffe tubikole tusobole okutambulira mu mukwano gwe ebbanga lyonna.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});