‘Mukozese ekisiibo okulwanyisa ebikemo’
Mar 17, 2022
ABAKRISTU bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okuwangula ebikemo, kubanga kino kiwa omukisa okukola “dduyiro” mu mwoyo, n’afuna obusobozi obwang’anga omulabe sitaani.

NewVision Reporter
@NewVision
Omukristu alina okukola dduyiro mu mwoyo nga yeerumya mu ngeri y’okwerekereza by’asinga okwagala, okusoma ennyo essaala n’okwegayirira, okwejjusa ebibi ng’akozesa esaakalamentu ly’okugabira abali mu bwetaavu n’ebirala.
Akulira eby’ensoma e Lubaga Fr. Anthony Musaala bwabadde akulembeddemu e Missa ku Lutikko e Lubaga.
Musaala yagambye nti ssinga Omukristu akola dduyiro mu mwoyo, ne Katonda amuwa amaanyi okulwanyisa empisa embi okuli amalala n’okwemanya ebivaako abantu okwonoona mu bulamu. Akubirizza Abakristu okusoma ennyo ekitabo ekitukuvu Bayibuli basobole okumanya Katonda byalagira okukola babiteeke mu nkola.
No Comment