Ebigambo Eby'amagezi ne Margaret Nankinga
May 25, 2022
l Obugagga si bw’oyo abulina wabula bw’oyo abweyagaliramu (Benjamin Franklin yali muvumbuzi era jjajja wa Amerika nga bwe tugimanyi leero).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
l Bwe bukya si bwe buziba (Njogera y’Abaganda)
l Obulamu bumpi, mwenya ng’okyalina amannyo (Tamanyiddwa).
l Ssaayansi atusomesa okulowooza naye okwagala kutusomesa okumwenya (Santosh Kalwar wa myaka 39, mukugu mu Ssaayansi ne tekinologiya mw’alina diguli eyookusatu)
l Tewali kintu kyonna mu bulamu ky’olina okutya, weetaaga kukitegeera butegeezi. Kino kye kiseera kye twetaaga okutegeera ennyo tukendeeze ku kutya (Marie Curie enzaalwa ya Poland oluvannyuma eyafuuka Omufalansa nga mukugu mu magezi ga ssaayansi nga y’omu ku baasooka okunoonyereza ku ssaayansi w’amayengo g’amasannyalaze ‘radioactivity’ ).
l Oteekwa okufuga ssente zo oba si kyo, obwavu bujja kukufuga emirembe gyonna (Dave Ramsey wa myaka 61, aweereza ku leediyo mu Amerika ku bikwatagana n’ebyenfuna, musuubuzi era muwandiisi)
l Akatono akatuuse kakira eddene essuubize (Njogera y’Abaganda).
l Linnya olusozi olabe ensi naye tolulinnya nti ensi ekulabe (David McCullough Jr. abeera mu Massachusetts musomesa era muwandiisi wa butabo)
l Omwaka omuggya bye gukuleetera bisinziira nnyo ku ggwe by’otwala mu mwaka omuggya (Vern McLellan mwogezi, muwandiisi, paasita era muweereza ku mpewo).
l Abagagga balina butivvi butono n’amaterekero g’ebitabo amanene, ate abaavu balina tivvi ennene n’obuterekero bw’ebitabo butono (Zig Ziglar yali muwandiisi, mwogezi era kitunzi mu Amerika, yafa mu 2012)
l Omuggo teguba gwa nalonda guba gwa natema (Njogera y’Abaganda).
l Obulamu bulinga ndabirwamu, gimwenyeze nayo ejja kukumwenyeza (Peace Pilgrim munnaddiini mu Amerika era omukakaalukanyi w’emirembe n’eddembe ly’ebisolo)
l Emirembe gijja kubukala mu nsi bwe tunaatandika okuyisa buli lunaku nga olwa Ssekukkulu (Helen Steiner Rice yali muwandiisi w’ebitontome eby’eddiini n’ebizzaamu essubi, mu Amerika)
l Amaaso g’Omuganda gali mu ngalo (Njogera y’Abaganda)
l Amannyo galaga kamwenyumwenyu naye omutima nagwo gumwenya?“(Njogera ya Kifirika)
l Ku Ssekukkulu buli luguudo lw’okwata lukuzza ka (Marjorie Holmes yali Mumerika omuwandiisi wa butabo bwa ddiini nga yawandiika 134 obwali obw’ettunzi ennyo).
l Mubaleke baggwe eggayahhano nga gw’ayagala y’ali kungulu (Njogera y’Abaganda)
Obulamu tekitegeeza kwezuula, butegeeza kwetondawo (George Bernard Shaw yali muwandiisi wa mizannyo)
l Olina abalabe? Ekyo kitegeeza olina okintu kye wali weesimbyemu n’okinywererako mu bulamu bwo (Sir Winston Churchill yaliko Katikkiro wa Bungereza okuva mu 1940-1945 n’addamu okufuga okuva mu 1951- 1955)
l Mukoomuwuulu tabaako matu (Njogera y’Abaganda).
l Buli nkomerero gijaguze kubanga enkomerero y’ekulembera entandikwa empya (Jonathan Lockwood Huie muwandiisi gwe baakazaako omufolosoofa w’obulamu. Buli lunaku afulumya olunyiriri lw’ebigambo by’amagezi ebizzaamu amaanyi n’essuubi ku mukutu gwe; www.jlhuie.com)
l Kuno ku nsi oli mugenyi era oliko akaseera katono. Topapa, teweeraliikirira era laba ng’owunya ku buli kimuli ky’oyitako (Walter Hagen yali Mumerika omuzannyi wa golf).
l Ekisooka byonna, ng’oyagala okubaako w’otuuka, salawo nti togenda kusigala awo w’oli (J.P. Morgan yali Mumerika munnabyanfuna eyatandika bbanka ya J.P Morgan Chase &Co.)
l Obulumi butegeeza nkyukakyuka. Oluusi ziba za bulumi, oluusi ziba nnungi naye ebiseera ebisinga ziba byombi (Kristin Kreuk wa myaka 38, muzannyi wa katemba mu Canada)
l Obutannaziba tobusindirako maluma (Njogera y’Abaganda).
l Obulamu tebutegeeza kusuubira, kuloota na kusabirira. Obulamu butegeeza kukola, kuba na kufuuka (Mike Dooley wa myaka 60, muwandiisi wa bitabo mu Amerika)
l Okulya ennyingi si kuggwa maddu (Njogera y’Abaganda).
l Amawulire amabi gali nti obudde budduka. Amawulire amalungi gali nti ggwe obuvuga (Michael Altshuler Mumerika eyatandikawo Believe & Achieve Tour)
l Abantu bangi basaasaanya ssente ze bakoze okugula ebintu bye bataagala, okusanyusa abantu be bataagala (Will Rogers yali muzannyi a katemba mu Amerika)
l Kkonkome bbi ye nnannyini kigagi (Njogera y’Abaganda).
l Obugagga tebuva mu kuba na bintu bingi naye buva mu kuba na byetaago bitono (Epictetus yali Mugereeki omufolosoofa)
l Omuntu alina ebitono si ye mwavu, nedda. Omwavu ye muntu ayagala ebingi okusinga by’alina (Seneca yali mufolosoofa okuva mu Yitale.)
No Comment