Akeezimbira; By'oteekeddwa okumanya ng'oteekateeka okuzimba ennyumba
Sep 27, 2022
EMBEERA y’ebyenfuna buli olukya yeeyongera kukaluba era kati abantu abamu abalina ebirooto by’okuzimba oba okumaliriza ennyumba zaabwe baabivaako.

NewVision Reporter
@NewVision
Ying. Dan Kayongo agamba nti abadde alina essuubi ly’okuzimba toggwaamu mmaanyi. Funa engeri gye weeteekateekamu ojja kumalako.
By’olina okukola okutuukiriza ekirooto kyo:;
Sooka ofune ekirowoozo, kakasa nti poloti ogirina, manya ppulaani n’ekika ky’ennyumba gy’oyagala okuzimba. Osobola okweyambisa obutabo bwa magaziini obukwata ku by’okuzimba oba okutambulako mu bitundu eby’enjawulo nga weetegereza ebika by’ennyumba n’engeri gye baakozesaamu ettaka lyabwe.
Weeteeketeeke bulungi Enfuna yo bw’eba si nnungi naawe sooka weewe obudde n’okunoonyereza. Oyinza okufuna omuzimbi n’akubaliramu bye weetaaga ne ssente ezeetaagisa.
Bw’olaba ng’okuzimba ennyumba omulundi gumu kikukaluubiriza, zimba mu bitundutundu oba okusooka okugula ebizimbisibwa byonna olyoke otandike okuzimba.
Ky’olina okumanya nti waliwo siteegi z’olina okukola omulundi gumu ng’okukomerera. Lowooza ne ku ngeri ekizimbe ky’ozimba gye kijja okukuyambamu mu biseera by’omu maaso. Kale buli ky’okola weebuuze ku bakugu.
Goberera emitendera gy’okuzimba; Okuzimba tekitegeeza kutabula musenyu ne seminti n’ogatta bbulooka. Waliwo ebintu ebirala by’olina okukola ng’okukuba ppulaani, okufuna olukusa lw’okuzimba okuva mu Council, okumanya w’ogenda okugula ebikozesebwa ebituufu n’omuzimba anaakukolera omulimu omulungi. Era toteebereza ku bintu ebimu wabula weebuuze ku bakugu bakuwabule.
Kalina nga eno okugizimba weetaaga okukuba ppulaani obulungi.
Tegekawo ssente z’ebigwa bitalaze; Oyinza okuba nga weetegese bulungi ng’era ssente ze baakubalira okuzimba ennyumba yo okutuusa ng’ewedde ng’ozirina. Kyokka olina okutegekayo ku ssente z’ebigwabitalaze.
Ojja kwesanga ng’olumu ssente ze baakubalira zirina okweyongeramu olw’ebintu okulinnya oba nga bye mwabala bitono ku byetaagibwa. Okugeza, nga bamaze okuzimba omusingi, oyinza okuba nga wali tokirowoozezzaako nti mwetaaga akuuma akanyiga ettaka obulungi nga tebannaba kuyiwa nkokoto oba bbeeyi okukyukakyuka nga abwe kiri mu kiseera kino.
Funa omuzimbi omutuufu bw’oba oteekateeka okuzimba, kyandibadde kirungi n’ofuna omuzimbi alina obumanyirivu, alina amazima era ng’ategeera by’akola.
Alina okuba ng’agoberera amateeka g’okuzimba ng’ate si mubbi agenda okukubala omufuulo oba okunnyuka n’ebikozesebwa nga seminti.
Mulina n’okukkaanya ku ngeri gy’ogenda okumusasulamu ssente z’akoledde. Olina okusooka okunoonyereza ku muntu oba kkampuni gy’ogenda okukozesa n’otegeera bulungi enkola ye.
Soma ebiri mu ndagaano gye mukoze obitegeere bulungi Bw’oba ozimba kizimbe kinene oba ng’okozesa kkampuni ezirimu okuteeka omukono ku biwandiiko sooka obisome bulungi obyetegereze.Bw’oba tobitegeera funa omukugu oba looya akusomeremu akunnyonnyole bulungi oleme kugwa mu nsobi.
Mulina okubaamu ebinaagobererwa ebituufu ne ssente ezeetaagisa okwewala okulwanagana eyo mu maaso buli atuuke n’okuyita munne omubbi.
Weetegekere omulimu okulwa Omulimu okulwa olw’ensonga emu oba endala tekikukosa mu budde bwokka wabula ne mu ssente.
Era embeera eno olina okugyetegekera naddala mu biseera by’enkuba, abakozi okulwala n’ebirala. Kati kiba kirungi ne mubyogerako ne yinginiya wo obutakuyingiramu naddala ng’ebireeseewo okulwa mu mulimu guno byewalika.
Manya ekika ky’ekizimbe ky’ozimba Ennaku zino waliwo ebika by’ebizimbe bingi ebizimbibwa omuli ennyumba z’okusulamu, ez’emizigo kalina, ez’amaduuka, amakolero n’ebirala. Kati gwe azimba olina okumanya ekika ky’okolako n’abantu b’olina okukola nabo.
Waliwo ebyetaaga yinginiya omu ng’ebisigga asobola okumaliriza kyokka ne wabaawo ebirala nga byetaagamu obukugu obulala. Buli kika ky’ennyumba kyetaagamu obukugu obw’enjawulo.
Empuliziganya yeetaagisa Ebizibu ebimu ebituukawo wakati wa nnannyini nnyumba n’omuzimbi kiva ku kubulawo empuliziganya. Kyetaagisa okutuuza enkiiko, okwebuuza ky’otategedde n’omuzimbi okukutegeezaako bwe wabaawo kyakyusizzaamu mu pulaani ne bye mwateesaako mu kusooka.
Manya w’ogenda okujja ssente nga ziweddewo Osobola okuba nga weetegeka bulungi ng’otandika okuzimba ng’era okimanyi nti zijja kukumazaako. Kati bw’olaba nga zikendedde, olina okuyiiya mu bwangu n’ofuna endala naddala nga toyagala mulimu kuyimirira.
Bw’oba ogenda kufuna looni, manya ekika kya looni ky’ofuna, omusingo g’ogenda okuteekayo, wogenda okujja ssente z’okusasula n’ebirala. Kyokka tekyandibadde kirungi kuteeka looni mu nnyumba ya kusulamu.
N’olwekyo, okuzimba ennyumba n’eggwa nga tufunye kutaataaganyizibwa kubaamu ebintu bingi ebisalibwawo omuzimbi ne nnanyini nnyumba. Ebisalibwawo bwe biba ebirungi, okuzimba kwanguwa n’omulimu ne gutambula bulungi kyokka bwe kubaamu ebisobye, ojja kufuna okutaataaganyizibwa.
No Comment