Weetabe mu mawuledi okumanya ebikwata ku Nabbi n’eddiini y’Obusiraamu
Nov 04, 2022
MAWULEDI kigambo kya Luwalabu ekitegeeza amazaalibwa era nga Abasiraamu bayita mu mawuledi okujjukirirako amazaalibwa ga Nabbi Muhammad (S.A.W) agabeerawo nga 12 mu mwezi ogwokusatu ku kalenda y’Obusiraamu.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Huzaima Kaweesa
MAWULEDI kigambo kya Luwalabu ekitegeeza amazaalibwa era nga Abasiraamu bayita mu mawuledi okujjukirirako amazaalibwa ga Nabbi Muhammad (S.A.W) agabeerawo nga 12 mu mwezi ogwokusatu ku kalenda y’Obusiraamu.
Sheikh Elias Kigozi, District Khadi wa Wakiso, agamba nti, kibeera kikulu mu Busiraamu okukungaana nga tujjukira amazaalibwa g’omubaka Muhammad (S.A.W) kubanga ku mukolo ogwo kubeerako okujjukira ebyafaayo by’eddiini y’Obusiraamu n’okutendererezaako Allah nga kino kiyambako abantu okwongera okutereeza n’okulongoosa okukkiriza kwabwe.
Agamba nti, ekituufu Nabbi Muhammad (S.A.W) ku mulembe gwe teyajaguzaako ku mazaalibwa ge olw’ensonga nti, Obusiraamu we bwajjira nga bulwanyisibwa nnyo, ng’ebiseera ebisinga yabimala mu kubutambuza n’okubutegeeza eri abantu mu bitundu eby’enjawulo.
Sheikh Kigozi, agamba nti, obulamu bwa Nabbi yasinga kubuwangaaliza mu kubunyisa Busiraamu era nga emikolo gye yakolanga nga gya ssanyu gyali mitono ddala bw’ogireraageranya ku egyo egy’okubunyisa Obusiraamu.
Agamba nti, Nabbi buli lwe yatuukanga ku mazaalibwa ge ng’agajaganya ng’ayita mu kusiiba n’okukola emirimu emirungi, olw’okubanga obudde yalina butono obw’emikolo gy’essanyu nga essira yasinganga kulissa ku kubunyisa Busiraamu.
Oluvannyuma lw’okufa kwa Nabbi nga n’Obusiraamu buteredde bulungi nga tebukyalimu ntalo, waliwo omusajja ayitibwa Imaam Busuri eyatunga ekitabo ekyogera ku ebyo Nabbi bye yakolanga ku lw’Obusiraamu era wano we baasalirawo okutuu-langa bajjukire ebyafaayo bye nga kino kyakolebwanga ku lunaku lwa Mawuledi era enkola eyo n’etandika.
Sheikh Kigozi agamba nti, enkola eno si ya kukkakkanya ddiini wabula nkola ey’okukuuma ekitiibwa kya Nabbi.
Agamba nti, Abasiraamu mu Surat Al-Ahzaab 33:56, ‘’Mazima Katonda ne Bamalayika be basabira Nabbi. Abange mmwe abakkiriza mumusabirenga era olusabirwa olwa namaddala’’, noolwekyo kitukakatako okumusaaliranga n’okumujjukira kubanga kirimu empeera.
Sheikh Kigozi agamba nti, ebintu bingi nga Nabbi teyabikola mu bulamu bwe naye ebbanga lyebimala nga tebikendeeza ddiini ya Allah tebiba haraamu.
Abasiraamu balina okufaayo okunoonya okumanya kibayambeko okwongera okumanya eddiini yaabwe ey’Obusiraamu.
No Comment