Asiika obulamu ; Biibino ebintu by'olina okukola okwetangira okufa ekikutuko

Nov 18, 2022

BANNAYUGANDA baweereddwa amagezi okwongera amaanyi mu kwekebeza endwadde naddala puleesa kubanga ssinga oba nayo n’otomanya oyinza okufa ekikutuko.

NewVision Reporter
@NewVision

Bino byogeddwa Dr. Geoffrey Kisuze, akulira eddwaliro lya Ndejje Health Center IV bw’ategeezeza nti abantu abafa ekikutuko oluusi baba batambula n’endwadde nga puleesa olwo bw’erinnya mu kaseera akatono esobola okusirisa omutima n’ofa ekibwatukira.

 

Wano we yaweeredde abantu amagezi okutwalanga obudde bagende beekebeze endwadde ya Puleesa okwewala endwadde ekika kino.

Twalayo akadde weekebeze Puleesa.

Twalayo akadde weekebeze Puleesa.

 Ono yalaze ebintu ebirala ebisobola okuvaako omuntu okufa ekikutuko omuli omusaayi okukwataka akatole ne katambulira mu musuwa nga bwe katuuka mu mutima kasobola okuguleetera okusirika era n’ofa mu bwangu.

 

Okwewala kino, ssinga obulabe obusobola okutuukawo ng’omusaayi gukoze akatole, bw’ofuna akabenje kisaanidde ogende mu ddwaaliro ogende mu sikaani okulaba oba nga tofunye katole mu musaayi okusobola okwewala okufa ekibwatukira.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});