Yiiya ssente ; Okutunda emboga ensaleesale akufunyeemu okusinga ennamba!

Nov 30, 2022

'EMBOGA ziri ku 2,000/- ne 3,000/-  wabula bwe ngisalaasala nsobola okugifunamu 5,000/ ne  6,000/-.

NewVision Reporter
@NewVision

EKIMU  ku biyambako Anna Namuli, omusuubuzi w’emboga mu katale ka Wandegeya kwe kuzisalaasala ekimuyambako okuzongerako omutindo n’okwongera  ku bungi bwazo.

Namuli agamba nti emboga buli bw’azisalaasala ayongera okugaziya akatale kaazo nti  we yanditunze emboga ttaano olunaku atunda 20.

Namuli ku mudaala gwe.

Namuli ku mudaala gwe.

 Ate emboga emu agifunako amagoba mangi okusinga nga tunze nnamba nga tagisazeemu . Agamba nti okusinga emboga aziguza abayokya enkoko mu katale ka Wandegeya ate n’abasuubuzi bangi abakozesa emboga mu ngeri ez’enjawulo.

‘Emboga ensalewsale zisinga kugulibwa abakola bizinensi y’okutunda enkoko enjokye mu katale kaffe  ne miriraano’, Namuli bwe yagambye.

Yayongeddeko nti bamugulako emboga eziwerako kubanga batunda enkoko mu bungi . Agamba nti omuntu ayokya enkoko kimuzibuwalira okwemalira  emirimu gyonna ky’ava yayiiya okuzisalaasala n’azibaguza .

Abalala abazigula be balina ebifo ebiriirwamu n’abakola  emikolo nga batwala z’amaze okusalaasala

Emboga ziri ku 2000/= =- 3000/- . Wabula bwe ngisalasala nsobola okugifunamu 5000/- - 6000/-.

Emboga z’entunda ensaleesale ntandikira ku 1000/= nga nzisiba mu kaveera akeeru  , 5000/= mu kaveera akaddugavu ne bbensani y’emboga ensaleesale ya 30,000/= .

 

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});