Amerika yeekengedde ssaayansi w’obusajja obwa kiragala

Feb 15, 2023

ABANENE mu America abamu batandise okunoonyereza ku bye bazudde ebiraga nti, bye babadde bayita bbaluuni za China bye baakubye ku wiikendi, byabadde bintubya maanyi ebitambuza obusajja obwa kiralagala okuva ku ssengendo ezenjawulo mu bwengula.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANENE mu America abamu batandise okunoonyereza ku bye bazudde ebiraga nti, bye babadde bayita bbaluuni za China bye baakubye ku wiikendi, byabadde bintu
bya maanyi ebitambuza obusajja obwa kiralagala okuva ku ssengendo ezenjawulo mu bwengula.
America emaze ebbanga ng’enoonyereza ku bya bbaluuni za China ezigirumba okugiketta kyokka ebintu bibiri bye baakubye ku wiikendi ne bibalema okumanya,
kati abamu bagamba nti yandiba kye baayise ‘Alien invasion.’ Ky’oyinza okunnyonnyola ng’okulumbibwa ebikekenke okuva mu bitundu y’ensi oba giyite ssehhendo etamanyiddwa. Gen. Glen VanHerck akulira ekitongole kya North American
Aerospace Defense Command (NORAD), nga kino ky’ekivunaanyizibwa ku kuketta ekintu kyonna ekiyinza okulumba Amerika ne Canada nga kiyita mu bwengula yategeezezza bannamawulire mu mawanga ago nti, ekitongole kye kiteebereza nti
Aliens oba obusajja obwa kiragala oba biyite ebikekenke ebikambwe, obwalema amawanga okutegeera, bwandiba nga kye balabako ennaku  zino mwe butambulira.
Bwe kiba nga kituufu, kati ekibuuzo kiba kisigadde kumanya nkwatagana y’ebyo ne China.
Mu kusooka ebintu ebikwatagana n’ebyobwengula naddala ebigambibwa nti obusajja obwo bulina amaanyi mangi n’ebyokulwanyisa ebisukka ku byonna ebiri mu nsi kwe tuli ate nga tebukubwa okugyako bwo okukuba ne buddayo ku zi ssengendo
ezikyalemye Abazungu bonna okutuukako, byasasaana nnyo mu myaka gya 1940 wakati mu Ssematalo owookubiri ne byeyongera bwe yaggwa mu 1945. Kyokka abamu
baabiwakanya nga bagamba nti oyo yali pokopoko wa ntalo.
Ng’akaleegabikya wakata wa Amerika n’omukago gwa Russia ogwa Soviet Union kalinnye enkandaggo ebigambo bye bimu byayongera okuyitihhanna, nga buli ludda, okusobola okukunga bannansi baalwo okwekengera olulala, lwakiteekanga ku ggwanga lye luwalaggana nalyo nti litegese olulumba ssinziggu nga lweyambisa n’obusajja obwo era nti bugenda kujjira ku nnyonyi ezimanyiddwa nga ‘flying saucer’ busanyeewo
ensi.
Olumu baagamba kusaanyawo ekitundu ky’ensi emu bwe zaaberanga mu kuwalangana, okusanyaawo ensi yonna oba emu ku nsi zonna ezaaberanga mu kunenehhana.
Wabula omukago gwa Soviet Union bwe gwagwa mu 1990, ebigambo bino ne bikendeera, kyokka Abamerika ne basigala nga banoonyereza ku busajja buno era
nga buli kiseera bawa lipoota ku kiba kituukiddwaako.
Byali bisiriikiridde kyokka bbaluuni ya China gye yayise enkessi y’embeeera y’obudde n’egamba nti okugenda mu Amerika gye baagikubira wiiki eri nti yali ewabyebuwabi,
byasajjudde embeera eyali yakoma edda.
Ebya bbaluuni kati Amerika egamba nti byasusse olw’ebintu ebibiri ebyakubiddwa ku wiikendi abamu bye balaba ng’embeera ya Soviet Union eyaliwo kati ng’ebbulukukidde
mu China, Amerika gy’erumiriza okugisindikira buli kimu ekisobola okugikuba esaanewo oba okugibega.
Ekitebe ky’eggye lya Amerika ekya Pentagon kyafulumya lipoota mu June wa 2021 nga balaga emirundi 144 eggwanga eryo gye lyali lirumbiddwa n’ebintu ebyefaananyiriza
ebiyinjayinja ebiwanuka ku zissengendo ezenjawulo mu bwengula gye bitaayaayiza era nga nabyo bakyabinoonyerezaako ku nsibuko yaabyo ate ebya China we biyingiriddewo.
Ebiyinjayinja ebyo kisuubirwa nti y’omu ku ssaayansi w’obusajja omugatte gwabwo gw’oyinza okuyita ‘extraterrestrial life’ kwe kugamba ebintu ebiri mu bwengula nga bigenda mu maaso kyokka nga si byangu bya kutegeera era by’oyinza okuyita ebikekenke.
Amerika yeekengera Russia ne China okugibega n’okubeera n’ekigendererwa eky’amaanyi okugikolako obulabe kyokka nga n’amawanga ago ekintu kye kimu
kye gateeka ku Amerika okugakola.
EMYAKA 2 EGYOLUTALO LW’OBWENGULA WAKATI WA RUSSIA, CHINA NE AMERIKA
Mu November wa 2021, Russia yakuba setirayiti mu bwengula ne mizayiro ezaagikuba zaawerebwa okukolebwa. Russia yawanga mizayiro ey’amaanyi ku nnyonyi n’egitwala mu bwengula bwe yatuuka ennyonyi w’etasobola kusukka, n’egikasuka n’ekuba ‘setirayiti’ yaayo n’esaanawo ebipapajjo ne bisigala mu bwengula. Amerika n’amawanga g’Abazungu gaakivumirira nti ebipapajjo ebyo bigenda kusasaana ng’olumu biyinza n’okugwa ku nsi ne bitta abantu. Bwe kitabeera ekyo balowooza nti biyinza n’okutomeregana n’ebizungirizi Abazungu bye basindika mu bwengula

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});