"Cocoa munogamu obukadde obusoba mu 100 buli mwaka"

Apr 09, 2023

SSAALONGO Dodoviko Matovu ow’e Bbaale mu mawokota mulimi era tosobola kumuggya ku nkumbi olw’ekirime kya Cocoa ky’anogamu obukadde bw’ensimbi buli sizoni.

NewVision Reporter
@NewVision

 Dodoviko Matovu ow’e Bbaale mu mawokota mulimi era tosobola kumuggya ku nkumbi olw’ekirime kya Cocoa ky’anogamu obukadde bw’ensimbi buli sizoni.

Yatandika ne yiika 5 n’azisimbamu endokwa za “Cocoa” 2500 nga zino yazisaasaanyizaako akakadde 1 mw’emitwalo 25 kuba buli ndokwa  yagigulanga 500.

Cocoa Omumyufu Bw'afaanana Ng'akyali Muto.

Cocoa Omumyufu Bw'afaanana Ng'akyali Muto.

Agenze agaziya ennimiro ye, nga kati ayingidde yiika 35 kw’alimira era erimu ebikolo ebisoba mu 17500. Wabula ku zino 35, yiika 20 zokka mw’akungula “Cocoa” omulala ali mu yiika e 15 ye akyali muto tannatandika kussaako bibala.

Cocoa alimu ebika okuli owa kiragala, n’omu mmyufu kyokka omumyufu y’asinga okugumira endwadde n’okubala obulungi.

Matovu Ng'ayanika Cocoa Gw'atunda Ng'akaze.

Matovu Ng'ayanika Cocoa Gw'atunda Ng'akaze.

Cocoa we amukungulira mu sizoni bbiri, eya March–June n’endala eya November-January. Buli sizoni akungula ttani eziri wakati w’e 9 ne 15.

Buli ttani erimu kkiro 1,000. Kino kitegeeza nti buli sizoni Matovu akungula kkiro za eziri wakati wa 9000 ne 15000.

Owa Kiragala Bw'afaanana.

Owa Kiragala Bw'afaanana.

Buli kkiro agitunda 6000 ekitegeeza nti buli sizoni  akwata obukadde obuli wakati wa 54 ne 90. Omwaka we guggweerako abeera  anoze obukadde obuli wakati wa 108 ne 180.

“Emiti  tegikalira kuba ne gibeera myezi nga si sizoni, nnondereramu nga ttani emu ku emu kitundu ey’ensigo enkalu.

Ng’ovudde ku kutunda ensigo za Cocoa enkalu, bwe babeera baakamusala amuggyamu omubisi n’agutunda era Abasiraamu be bamu ku bakaasitoma be.

Cocoa Bw'afaananan Munda Ng'omusaze.

Cocoa Bw'afaananan Munda Ng'omusaze.

 Buli kidomola akitunda emitwalo 2. Mu biseera bya sizoni, omwezi ogumu asobola okutundiramu ebidomola nga 40. Okusobola okufuna omubisi omulungi omuyonjo, lwe batemye bamuggyamu omubisi abagwagala ne bagutwala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});