Amawulire

Omusajja abadde agezaako okusobya ku mukazi bwe byagaanye n’amwefuulira n’amukuba akwatiddwa

Omukazi addukidde ku poliisi y'oku Kaleerwe n'aloopa omusajja ng’amulumiriza okumukuba n’amwasa eriiso bwe yabadde amulwanyisa okumwetaawuluzaako obutamusobyako.

Omusajja abadde agezaako okusobya ku mukazi bwe byagaanye n’amwefuulira n’amukuba akwatiddwa
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

Masituula Naiga 35, ye yaddukidde ku poliisi y’oku Kaleerwe n’abaloopa Asiimwe Naboti ku Fayiro nnamba SD REF 3/9/7/2023 ng’amulumiriza okumukuba n’amwasa eriiso  bwe yabadde amulwanyisa okumwetaawuluzaako obutamusobyako.

Naiga Alumiriza Naboti Okumukaka Akaboozi.

Naiga Alumiriza Naboti Okumukaka Akaboozi.

Naiga yagambye yabadde alina gy’ava ng’adda awaka ku ssaawa 6 ez’ekiro we yasangidde Naboti n’amuvumbagatira ng’ayagala kumukaka kaboozi wabula waabaddewo abantu abaabaddewo ne bamumutaasaako.

Yayongeddeko nti ensonyi yazifudde ate obusungu n’amukuba  ekyavuddeko okufuna ebisago  mu maaso nga waliwo.

Naboti Eyakwatiddwa.

Naboti Eyakwatiddwa.

Naboti obwedda yeekangabiriza ng’agamba nti omukazi tamumanyi kyokka oluvannyuma yasabye abaserikale ensonga baleme kuzongeraayo mu maaso kuba Naiga tamulabangako kirabika  waliwo ali emabega w’okwonoona erinnya lye .

Poliisi ng’emaze okukwata Naboti kyawalirizza muganzi we Aisha Mbabazi okugumba ku poliisi ng’ayagala bamuyimbule ng’agamba nti ye bba we amumanyi talina mutawaana.

Omuserikale Ng'awooyawooya Mbabazi.

Omuserikale Ng'awooyawooya Mbabazi.

Kyokka oluvannyuma yeefudde n’alabula Naboti nti ssinga abaserikale banaakizuula nti kituufu yabadde ageezaako  okukaka omukazi akaboozi bwe bamuyimbula bagenda kwawukana.

Naiga Ng'alaga Amannyo Agaakoseddwa.

Naiga Ng'alaga Amannyo Agaakoseddwa.

 

Tags:
Amawulire
Poliisi
Mukazi
Masituula Naiga
Kaleerwe
Asiimwe Naboti
kusobya