Nnalulungi wa Uganda, olagako wa akawungeezi kano?
Nzira waka naye oba otegedde otya nti ndi nnalulungi?
Omulungi tabula naye era ntera okukulaba ku mitimbagano nga ggwe Miss Western mu Amvis Modeling Agency?
Wabula ommanyi nnyo ggwe. Ye nze mmwenyini era kati nzira waka.

Ssali ng'anyumidde mu kateeteeyi.
Omuwala omulungi nga ggwe, anyuma okutwalako ‘out’?
Ebya leero tebijja kunkolera. Ka hhende ntuuleko awaka.
Awaka okuumayo ki ekyo?
Nneekuuma ng’omwana ow’obuwala.
N’ababeera ‘out’ basobola okwekuumirayo?
Ku buno obwavu obungi obuti, buyinza okukukozesa ensobi ng’oli ‘out’.
Obwavu ewange tebunnatuuka.
Bwe nkula njagala mbeera nga ggwe.
Awo ntwala butwazi okimale.
Anti nnyinza okugwa mu mbi za ba Kaftan Queen n’onkubya egya Pretty Nichole.
Shaaa... nga naawe olwanamu. Ebirungi babirwanira.
Aya...!, Sky waabwe simanyi na bwe bafunya ng'uuumi.
Naye era totya nnyo, ettaka kwe ntudde tekuli nkaayana era osobola okuzimba misana ttuku.
Ba bbulooka temuli bangu muwaana n’ebyatundwa edda.
Awaka odda wa nkuwerekereko?
Makindye ku bbeesi.
Kiki ky’omanyi ku bawala ababeera e Makindye?
Tuli balungi, tewali yakyama.
Ku mubiri gwo kiki ekisinga okukunyumira?
Amaaso n’akabina.
Nange nabyegombye dda.
Woowe.. nze!.
Obudde bwo obw'eddembe oba okola ki?
Ntera okuwandiika ebitontome, oluusi nneebaka oba okuwuliriza myuziki.
Mpandiikirayo ekitontome ky’omukwano?
Mmanyi kuwandiikira bamenyese mitima bokka.
Yiiyi? Baali bagukumenyeko?
Abaana b’e Kampala balabe dduka.
Kati tudde ku b’awa?
Ffe kye twava twabiwummula.
Ku myaka emeka egyo?
22 egy’obuto.
Gwe lwaki wabikeera?
Nnali njagala kulaba bwe binyuma.
Olabika otegeera ssente?
Era ebikwatagana ne ssente nkoonaako.
Ku ssente buli kimu okikola?
Bwe kiba kya Bwakatonda.
Bawala banno otera kubabuulirira ki?
Bakole ssente obulamu bubanyumire.
Olwo bwe mba sikuyise nnalulungi nkuyita ani?
Sky Beauty Queen oba Sharifah Ssali.