Engeri ennyangu ey’okulunda envunyu z’oliisa ebisolo byo n’okekkereza ensaasaanya ku mmere
Oct 30, 2023
ENSANGI zino abalunzi abasinga basoomoozebwa emmere gye bawa ebisolo byabwe nga gye bagula tekoma ku kuba ya bbeeyi wabula oluusi teba ku mutindo gwetaagisa, olwo omulunzi agiguze ate n’afiirwa mu kifo ky’okufuna amagoba.

NewVision Reporter
@NewVision
ENSANGI zino abalunzi abasinga basoomoozebwa emmere gye bawa ebisolo byabwe nga gye bagula tekoma ku kuba ya bbeeyi wabula oluusi teba ku mutindo gwetaagisa, olwo omulunzi agiguze ate n’afiirwa mu kifo ky’okufuna amagoba.
Ekizibu kino abantu ab’enjawulo naddala abalima mu nnima y’obutonde batandise okukisalira amagezi nga basomesebwa ku bintu eby’enjawulo bye basobola okweyambisa okuliisa ebisolo byabwe ate nga basobola okubyekolera nga tebakozesezza ssente nnyingi.
Omukisa ogw’amaanyi abalimi b’ennima y’obutonde gwe balina kwe kuba nti, yunivasite ya Uganda Martyrs etambula nabo era ebawadde obuyiiya bulungi ng’abo ababutadde mu nkola batandise okulaba enkyukakyuka.
Obumu ku buyiiya yunivasite eno bw’eyigirizza abalimi y’enkola ey’okulunda envunyu ennene ze baliisa ebisolo byabwe wamu n’ebinyonyi nga enkoko. Envunyu zino ennene bazikozesa mu kifo kya mukene oba soya ow’ebbeeyi ali ku buseere.
Omu ku balimi era abalunzi abasoma engeri y’okulunda envunyu zino okuva ku Uganda Martyrs University e Nkozi ye, Samuel Kabuye omutuuze ku kyalo Kizigo ekisangibwa mu divizoni y’e Najjembe mu disitulikiti y’e Buikwe.
Kabuye alima mu nnima ya butonde era ng’ava mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Youth at Risk Development Network (UYDNET) nga muno mwe bayita okukwatagana ne Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA) okutumbula ennima y’obutonde mu ggwanga.
Bwe yamala okusomesebwa engeri y’okulunda envunyu ennene yaddayo mu kyalo n’atandika okuzirunda era kati mukugu ng’asomesa n’abalala okukola omulimu gwe gumu.
Samuel Kabuye (ku kkono) n’abamu ku bavubuka abali mu UYDNET nga balaga emitendera egy’enjawulo egy’envunyu. Wakati ye, Deborah Nabulime ne Ruth Rose Nassonko.
BW’OTABULA ENVUNYU MU MMERE Y’EBISOLO TEWEETAAGA KALUNGO
Kabuye agamba nti: Abalunzi naddala ab’enkoko bakozesa ‘akalungo’ nga bakatabula mu mmere yaazo ne kaziyamba okukula obulungi kubanga kalimu ekirungo ky’ekiriisa eky’emmere ezimba omubiri. Ekirungo ekyo ate mu nvunyu kya maanyi nnyo nga singa oba ozeerundidde ssente z’akalungo oba oziwonye.
Ng’oyagala okutandika okulunda envunyu zino, sooka onoonye abakugu mu kuzirunda bakusomese, bakulage ebimu ku bintu ebitonotono by’osobola okutandika nabyo nga akatimba mw’onookuumira ensowera ezo ennene (Black Soldier Fly) ezibiika, ekifo w’onookuumira amagi g’eneebiika ate n’engeri gy’onoogaliisa okulaba nga gakula ne gavaamu envunyu ennene gy’onooliisa ebisolo gamba nga embizzi, ebyennyanja, enkoko n’ebirala.
Ky’otolina kwerabira kiri nti, ensowera eno mu ntandikwa olina kutega ntege, naye bw’emala okubiika amagi, olina okutandika okuterekako agamu nga ge gavaamu ensowera endala zitandike okukuwa amagi nga tozzeemu kutega.
Amagi ensowera ge zibiise olina okugakuuma obulungi, bwe gaweza ennaku nga ssatu oba nnya gaba gatandika okulya, awo ng’ogateeka ku bintu ebiringa ebivunze ng’ebyo bye zirina okulya okutuuka lwe zikula.
Bwe kituuka mu kuziriisa ebisolo, osobola okuziziwa nga mbisi oba okuzikaza n’ozitwala ku kyuma ne bazikuba olwo n’ozitabula mu mmere endala n’owa ebisolo byo.
Kabuye ng’alaga envunyu z’alunda n’aziriisa enkoko ze Samuel Kabuye (ku kkono) n’abamu ku bavubuka abali mu UYDNET nga balaga emitendera egy’enjawulo egy’envunyu. Wakati ye, Deborah Nabulime ne Ruth Rose Nassonko.
Engeri ennyangu ey’okulunda envunyu z’oliisa ebisolo byo n’okekkereza ensaasaanya ku mmere
TWENYIGIRE MU BULIMI WADDE TULINA EBIRALA BYE TUKOLA
Ruth Rose Nassonko, nga y’omu ku bavubuka abali mu UYDNET agamba nti:
Bannayuganda naddala abakyala balina okumanya nti, balina okwenyigira mu kulima n’okulunda kubanga bwe bakola kino baba bajja kusobola okuleeta emmere mu maka.
Si nsonga oba olina omulimu omulala gw’okola, okugeza, nze ndi musomesa naye bwe mmala okusomesa ate nneenyigira mu kulima n’okulunda nsobole okufuna emmere emala.
Ensangi zino, okuba ‘n’enjala’ empanvu ku ngalo naye ng’abaana bo bafa enjala tekikola makulu era tulina okukisalira amagezi.
No Comment