By’olina okukola okukendeeza ensaasaanya ku ffaamu ofunemu
Oct 30, 2023
OKUFUNA mu bulunzi bw’enkoko olina okuba n’okwagala okw’enjawulo n’obumalirivu kuba bingi by’oyitamu okutuuka ku buwanguzi.

NewVision Reporter
@NewVision
OKUFUNA mu bulunzi bw’enkoko olina okuba n’okwagala okw’enjawulo n’obumalirivu kuba bingi by’oyitamu okutuuka ku buwanguzi.
Auleria Kemigisa,30, nnannyini Grun Farm International kw’alundira enkoko ku kyalo Buso-Namulonge mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti, okufuna akakoko ak’olunaku olumu okalunde okutuuka ku myezi ena enkoko etandike okubiika okwate ku ssente oteekwa kuba mugumiikiriza nga ne ky’okola okyagala.
“Okwagala kwe nnina mu kulunda si kwa kufuna ssente kyokka wabula n’okusikiriza abalala naddala abavubuka nabo okubuyingira kuba bulimu ssente. Bangi be mbwagazisizza era ne mbatendeka nga kati baafuna bizinensi,” bw’agamba.
Kemigisa omu ku balunzi abaavuganya mu mpaka z’Omulimi Asinga omwaka guno ezitegekebwa Vision Group etwala ne BUKEDDE nga zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi era KLM Royal Dutch Airlines ne Koudijs BV.
Kemigisa alunda enkoko z’amagi 4,000 mu keegi, alina ekyuma ekikuba emmere ate kalimbwe n’amukozesa okukola omukka gwa Biogas gw’akozesa okufumba awaka.
OKUTANDIKA GRUN FARM
Kemigisa agamba nti, okulunda kyali kirooto kyabwe ne bba Aggrey Asiimwe era mu 2020 baatandika ffaamu eno nga bali ne mukwano gwabwe Jovan Ninzeyimana era bagiddukanya nga bizinensi ya ffamire.
“Ffe okulunda si bizinensi ya kukolamu ssente kyokka wabula engeri y’okutambuza obulamu ekyetaagisa obuyiiya n’okuwa obudde,” bw’agamba.
Olw’okuba baali baagala okuyingira obulunzi nga bizinensi, baatandika okukyalira abalunzi n’okwetaba mu misomo gye baafuna okumanya ku bintu eby’enjawulo okutuuka okusalawo okulunda enkoko.
“Oluvannyuma lw’okukyalira abalunzi ab’enjawulo, twatandika okulunda enkoko ez’amagi nga twatandika n’enkoko 1000 mu 2020 kuba twalina ssente z’okutandika ntono ate twaterekanga,” bw’agamba.
Okuva wano, baatandika okugenda nga bagaziwa nga mu kiseera kino balina enkoko ezibiika 3,109 nga ziri mu bukulu bwa mirundi ebiri n’ento ez’omwezi ogumu 1,121.
“Olw’okuba eno bizinensi yaffe, tugiwa obudde n’okugirowooleza. Noolwekyo, tetukomye ku kwongera ku muwendo gwa nkoko naye twongedde ne ku tekinologiya nga kati tulundira mu keegi eziyamba okukuuma obuyonjo, okwewala okubbibwa kuba kikwanguyiza okubala enkoko zo, okukekkereza emmere ate nokwanguya emirimu,” bw’agamba.
BBULUUDA
Kemigisa agamba nti, ekiyumba kye baatandikiramu okulunda enkoko kati kye bakozesa nga bbuluuda. Annyonnyola nti, wadde enkoko zaabwe bazirundira mu keegi, basooka kuzikuliza mu bbuluuda okumala beeyongera okunoonyereza okuyita ku yintaneeti n’okukyalira abalunzi abalala ne bakizuula nti, okulundira mu keegi nkola esinga okuyamba omulunzi w’enkoko okufuna mu bizinensi eno.
“Zikendeeza okusaasaana kw’obulwadde kuba enkoko zibeera wayonjo, obutabbibwa kuba buli keegi ebeera n’omuwendo ogussibwamu ng’oyanguyirwa okulaba eggyiddwawo ate n’okulaba etabiika kuba amagi geekuhhaanya mu muteeko okusinziira ku buli keegi,” bw’agamba.
Annyonnyola nti, baatandika mpola naye leero ekiyumba ekimu kyajjula nga kisobola okutwala enkoko 3000.
EMISOMO GIBAYAMBYE KINENE
Kemigisa agamba nti, mu misomo n’okulambula ffaamu baakizuula nti, emmere etwala ettundutundu lya bitundu nga 70 ku 100 ku nsaasaanya ya ffaamu ekitegeeza nti, omulunzi anaafuna mu nkoko, kimwetaagisa okukwataganya omutindo n’ebbeeyi y’emmere gy’oliisa enkoko zo okusobola okubiika obulungi.
emyezi esatu ne balyoka bazissa mu keegi nga zinaatera okutandika okubiika.
“Olw’okuba bbuluuda tukozesa y’emu nga buli luvannyuma lwa myezi tuleeta obukoko, tutandika okugiteekateeka nga tebunnajja. Wano ekisenge tukyoza wansi n’ebisenge n’oluvannyuma ne tukifuuyira n’eddagala eritta obuwuka ng’ebula nga wiiki nnamba okutuusa obukoko,” bw’agamba.
Ng’ebula ennaku bbiri, bano batandika okubugumya ekisenge kino nga kino kiyamba okukakasa nti, ebbugumu erikirimu lyenkana wonna okutangira obukoko okwekomeka awamu ekibuleetera okuziyira ne bufa.
Olw’okuba obukoko buno bubeera buto, obeera olina okubuwa ebbugumu ng’okozesa ensuwa omussibwa amanda kw’ossa ettundubaali eritangira empewo esusse naddala mu budde bw’ekiro n’enkuba ng’etonnya.
Eb isingawo gula e paper: https://epapers.visiongroup.co.ug/
No Comment