Bukedde ekuleetedde omusomo gwa Master class ku ndiisa y’ebinyonyi n’ebisolo leero

EMMERE etwala ebitundu 70 ku 100 eby’ensaasaanya y’eddundiro nga kikulu okumanya emmere entuufu ate n’enkwata yaayo osobole okukwataganya ensaasaanya osobole okukola amagoba.

Joshua Kato omukung’aanya w’akatabo ka Harvest Money ng’ayogerezeganya ne Yohan ku nteekateeka z’omusomo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EMMERE etwala ebitundu 70 ku 100 eby’ensaasaanya y’eddundiro nga kikulu okumanya emmere entuufu ate n’enkwata yaayo osobole okukwataganya ensaasaanya osobole okukola amagoba.
Ggwe omulunzi w’enkoko z’ennyana n’amagi, ebyennyanja ate n’ente z’amata tolina kusubwa musomo gw’entabula y’emmere n’enkwata yaayo egenda okukuwa amagoba ku BUKEDDE TV1 nga ggwe ayagala okumanya enkwata y’emmere eneekuwa amagoba tosaanidde kusubwa musomo guno.
Omusomo guno gwa kutandika leero ku Mmande nga January 22 okutuuka ku Lwokuna nga January 25 nga gwakulagibwa butereevu ku BUKEDDE TV1 okutandika ku ssaawa 5:00 ez’oku makya okutuuka ku 6:00 ez’omu ttuntu.
Omusomo guno gussiddwaamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, kkampuni ya KLM, bbanka ya dfcu ne kkampuni ya Koudjis abatuusa emmere y’ebisolo n’ebinyonyi esinga omutindo nga be bassa ssente mu mpaka z’Omulimi Asinga.
EBIGENDA OKUSOMESEBWA
􀁺􀀃Okusinziira ku nteekateeka, leero (ku Mmande January, 22) wagenda kubeerawo okusomesa ku ndiisa y’ebyennyanja (engege) entuufu ate n’okulondoola enkula y’ebyennyanja byo. Ivo Van der Lee okuva mu Budaaki y’agenda okusomesa.
􀁺􀀃Ku Lwokubiri nga January, 23 omusomo gwa kutunuulira ennunda y’enkoko z’amagi ekola amagoba. Ng’omusomesa ye Johan Verhoek, atwala kkampuni ya Koudijs mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa.
􀁺􀀃Ku Lwokusatu, abalunzi b’enkoko z’ennyama n’abaagala okuzitandika baakusomesebwa ku ngeri y’okuliisa enkoko zo ekekkereza emmere kyokka enkoko ne zikula bulungi olwo n’okola amagoba agawera nga Johan Verhoek y’agenda okusomesa.
􀁺􀀃Ate ku Lwokuna nga lwe lusemba wajja kubeerawo omusomo gw’otumbula amagoba okuva mu nte z’amata okuyita mu ndiisa entuufu.
Yohan agamba nti, kikulu nnyo omulunzi okumanya endiisa entuufu kuba emmere nkulu mu kuzimba ebitundu by’ebirundibwa eby’omugaso nga nnabaana, amagumba, okussaako ennyama okusinziira ku bukulu, okulwanyisa endwadde kw’ossa okukuwa amagi eri enkoko oba amata mu nte olwo n’okufuna ssente.
“Omulunzi awa by’alunda emmere etabuliddwa n’akalungo ka Koudijs agenda kufuna ekisinga ng’atandika n’okukekkereza ssente z’asaasaanya ate by’alunda bimuwe ekisinga mu nnyama, amagi n’amata,” bw’agamba.
Weetabulire emmere nga weeyambisa ekirungo kya Koudjis nga kino kibeeramu ebirungo byonna ate ku mutindo omutuufu olwo nga weetaaga kugula kasooli akubiddwaamu obuweke obutono ne bbulandi n’ebirungo ebirala otabule emmere.