'Katonda baayazise ssente tukwatire wamu kitole okuzza Kalungu ku ntikko'
Mar 01, 2024
ABALIMI mu disitulikiti y'e Kalungu naddala ab'emmwanyi bakubiddwa enkata bwe batabuddwa bbomba ezifuuyira ebirime.

NewVision Reporter
@NewVision
ABALIMI mu disitulikiti y'e Kalungu naddala ab'emmwanyi bakubiddwa enkata bwe batabuddwa bbomba ezifuuyira ebirime.
Bbomba zigendereddwamu okubayambako mu kuyuuyira ebirime naddala obuwuka obukaza obutabi bw'emmwanyi ne bufiiriza abalimi ssente z'amakungula.
Munnamateeka w'omu Looya Ismael Ssemakula Ssajjakambwe y'abagabidde bbomba zino eziwera 500 nga za liita 20 mu kaweefube w'okukwatizaako Bannakalungu gy'azaalwa mu kusitula ebyenfumba bya disitulikiti.
Looya Ssemakula ng'atuusa bbomba zino,azibatwalidde ku byalo gy'asisinkanidde abalimi n'abakubiriza okukola ennyo balwanyise obwavu mu Kalungu.
Abagambye nti bwe bakwatiza awamu mu nkulaakulana nga tebetemyemu basobolera ddala okutumbula Kalungu n'abaamu Obugagga obumwegombesa ab'ebitundu ebirala.
Ssemakula awaddeyo n'endokwa z'emmwanyi ekika eky'embala eza Cutting eri Abakristu b'ekisomesa ky'e Natitta Sub Parish bazisimbe ku ttaka ly'eklezia yaabwe.eriwerako yiika satu.
Yeeyamye okubakwatizaako ku 'mulimo gw'okusimisa ebinnya n'abakozi abannazisimba n'abagamba nti buvunaanyizibwa bwabwe okutuusa Kalungu ku ntikko.
Mmeeya wa Kalungu Town Council John Kiragga era omulimi w'emmwanyi ng'alina n'ebyuma ebizisunsula ategeezezza nti akawuka akakaza obutabi bw'emmwanyi kaludde nga kajojobya abalimi baazo mu disitulikiti eno era bangi bakaasimula nga bugolo.
Kiragga agasseko nti bbomba zino zijjidde mu kiseera abalimi we bazeetaagira naddala mu kutaasa emmwaanyi zaabwe nabo beetundireko ku bbeeyi eya11,000/- buli kiro ya kasse.
Akubiriza abalimi okukozesa bbomba zino mu kufuuyira emisiri gyabwe nga bafuna eddagala okuva mu madduuka g'ebyobulimi abeesigika bajja kutta akawuka kano.
Looya Ssemakula agambye nti enkola eno waakugenda nayo mu maaso kwe kusaba n'abalala bonna Katonda b'ayazise ku ssente bamwegatteko mu kaweefube w'okukyusa ekifaananyi ky'e Kalungu.
No Comment