Kozesa ppampu okufukirira emmwaanyi ofunemu
Jul 18, 2023
NG’EKIRIME ky’emmwaanyi kyeyongera ebbeeyi buli lukya, okusoomooza kw’akasana akazikosa mu nkula yaazo ne kaziremesa okubala obulungi, abalimi basobola okukasalira amagezi nga bakozesa ppampu okuzifukirira.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Musasi wa Bukedde
NG’EKIRIME ky’emmwaanyi kyeyongera ebbeeyi buli lukya, okusoomooza kw’akasana akazikosa mu nkula yaazo ne kaziremesa okubala obulungi, abalimi basobola okukasalira amagezi nga bakozesa ppampu okuzifukirira.
Akasana kakosa nnyo emmwaanyi mu nkula yaazo ssaako n’omutindo gwazo mu makungula nga zikola ‘ekirerya’ ekizigaana okuzitowa.
Kino kitegeeza nti buli alima emmwaanyi mu nkola ya bizinensi, yandifubye okufuna ppampu epika amazzi okuzifukirira singa akasana kaba kasukkiridde naddala mu biseera by’enkuba ng’eruddewo okutonnya.
Ppampu z’amazzi za mirundi ebiri omuli eza yingini ez’amafuta wabula zino za bbeeyi wamu n’ezo ez’amasannyalaze oba jjenereeta.
Ppampu y’amasannyalaze ehhumu osobola okugifuna ku 500,000/-, mmita y’olupiira efukirira eva ku 5,000/- okudda waggulu okusinziira ku bugazi bwayo.
Singa amasannyalaze gaba wala, osobola okugula jjenereeta okuva ku 2,000,000/- okudda waggulu.
Obuwanvu by’ekinnya okukka wansi omusikibwa amazzi kwe kusinziira amaanyi ga ppampu gye weetaaga.
Binnyonnyoddwa William Sekindi omusuubuzi ate nga mulimi wa mmwaanyi e Mityana.
No Comment