Omukka emmotoka gw'efulumya ne kye gutegeeza
Jul 16, 2024
OMUKKA emmotoka gw’efulumya mu ekizoosi gulina kinene kye gwogera ku mbeera emmotoka mw’eri.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUKKA emmotoka gw’efulumya mu ekizoosi gulina kinene kye gwogera ku mbeera emmotoka mw’eri.
Francis Mugenyi, makanika wa mmotoka ku JSK Motor Hub agamba nti omukka omuddugavu kiraga obulwadde obuli mu mmotoka era nga kitegeeza nti ‘Nosal’ ziyiwa amafuta mangi mu kyokero emmotoka n’eremererwa okugookya obulungi.
Wano ddereeva abeera alina okukebera ku yinjekita ppampu kuba y’evaako ‘nosal’ okuyiwa amafuta amangi. Emmotoka mu mbeera eno eba enywa amafuta mangi ate n’omukka ogwo gukosa embeera y’obutonde. Emmotoka bw’efulumya omukka omweru eba efuuwa.
Kitegeeza yingini y’emmotoka eyo nfu nga yeetaaga kusiba kuba eba eyokya woyiro mumafuta. Eyinza okuba nga yaggwaako ‘ring’, nga yayonooneka valve, siiru zaggwaako era eba terina maanyi era ng’enywa woyiro mungi.
Omukka omweru ne bbululu guno gutera okulabikira mu mmotoka eziba ne ttabo era gutegeeza nti ttabo eyokya woyiro era eneetera okufa. Emmotoka eno eba ekozesa woyiro mungi ate nga tevuga ng’endo mpanvu.
Emmotoka bw’eba ya Diesel bw’ogirinnyako efulumya akakka akaddugavu akatono, eba tenywa nnyo, erina amaanyi ng’etambula olugendo lwonna.
Bw’eba ya petulooli naddala ku makya bw’ogirinnyako eba efulumyayo otuzzi tutono ate bw’emala okubuguma ne bw’ogirinnyako terina mukka guli awo gw’efulumya wabula eba nga efulumya empewo.
Naye ennaku zino waliwo emmotoka ezisengejja nga omukka bwe guba gufuluma si gwa bulabe eri abantu wadde obutonde bw’ensi.
No Comment