Ssanyu ; Nnyumirwa eby’okunfaako
Mar 06, 2024
Ssanyu Phiona Kagoya ababuuzaako.

NewVision Reporter
@NewVision
Mukwano ndudde nga nkunoonya nga neebuuza gye nnyinza okukusanga?
Shaa! Ku guno omulembe toyinza kunnoonya nga mpisi ku zino essimu ezajja ne social
media.
Kati ennamba ogenda kuginsomera oba?
Bw’eba nga bizineensi obeera ogenda kufuna ennamba yange, wabula bwe bibeera
nga birala siyinza kutawaana kugikuwa.
Kati maama saakutegedde mannya go kuba tuyinza okugenda okumaliriza emboozi nga neerabidde okugakubuuza?
Nze Phiona Kagoya, wabula nga FIFI dancehall lye likola ssente.
Fifi biki, wabula omulembe gwa dot.com kye gutaatukole, kati lino likolera litya
ssente, ye okola mulimu ki?
Ndi kitunzi wabula nga kuno kwe nteeka n’okuzina amazina ng’omulimu gwange
ogw’ebbali.
Lazimaaaa! kafiga nkalabye, ye okakuuma otya?
Sirina ky’amaanyi kyenkola, wabula neebaza maama kuba yansalirako ku kabina
ng’enkula yange, yeeyiye.
Nkulaba wenna olabika okutema ddansi ne wenyogootola ng’ekisaanyi, kati
obulamu obuliirawa?
Obulamu mbuliira wangi naye nkikola singa mbeera ninayo ekivvulu kuba omulimu gwe nsinga okutambulirako nga ngenda awuntu.
Mu Uganda wano, kifo ki kyewandyegombye okubeeramu?
Omuntu yandibadde abeerako e Munyonyo kuba wasirifu waliyo babedde, ng’ate ennyumba zaayo za mutindo.
Kintu ki kye wali okoze mu bulamu bwo, nga toyinza kukyerabira?
Okugwa mu laavu ebya ddala n’omuntu nga naye anjagala era ne nzikiriza okugibeeramu ng’ono yatuuka n’okujja ewaffe kuba eyasooka byali byakiyaaye.
Otugambye nti wagwa mu laavu n’omuntu eyajja ewammwe, ekitegeeza oli
mufumbo tonoonya?
Sinoonya, wabula ng’era nkiwa omukyala yenna kye yandiyagadde kubeerako ew’omuntu ng’amwagala era ng’amufaako.
No Comment