Engeri gy'okozesa awaka okugaziya ennyingiza yo
Aug 24, 2024
Embeera y'ebyenfuna gy’ekomye okukaluba naddala mu Kampala bangi batandise okulowooza ku ngeri gye basobola okukozesa awaka okugaziya ku nnyingiza.

NewVision Reporter
@NewVision
Embeera y'ebyenfuna gy’ekomye okukaluba naddala mu Kampala bangi batandise okulowooza ku ngeri gye basobola okukozesa awaka okugaziya ku nnyingiza.
Kino kyangu era kisoboka kyokka olina okusooka okutwala okusaba kwo mu KCCA ne bayisa byoyagala okukolerawo. Tolina kukeera ku makya n'ogamba nti ennyumba yange nzifudde loogi nga tolina akuwadde lukusa.
Ying. David Luyimbazi, omumyuka wa Dayirekita wa KCCA agamba nti bwoba onookyusa kyobadde okolera mu nnyumba kiba kikwetaagisa okusooka okufuna olukusa okuva mu KCCA, Munisipaali oba disitulikiti.
Mu Kampala abaagala okukyusa batwala okusaba kwabwe mu KCCA nga bawandiikira ekitongole kya Directorate of Physical Planning. Olina okujjuza empapula n'oteekako ekyapa oba endagaano eraga obwannannyini.
Bwoba osaba olina okulaba byoyagala okukyusa n'ekyoyagala okukolera mu nnyumba oba ettaka. Akakiiko ka Physical Planning bwe kamala okukakasa okusaba kwo, oliko omutemwa gwolina okusasula mu KCCA.
Ssente zisinziira ku bunene bw'ettaka awamu n'okubalirira okubeera kukoleddwa ekitongole ky'ebyemisolo.
Bwomala okukyusa enkozesa y'ekifo olwo nnannyini abeera asuubirwa okutandika okusasula omusolo gw'ennyumba eri KCCA kuba ennyumba ebeera efuuse ya bizinensi. Fred Mutyaba ow'e Nateete
agamba yalina oluggya lunene nga talina kyalufunamu, okutuusamukwano gwe bwe yamuwa amagezi ne bateekamu ppaakingi y'emmotoka.
Okuva olwo akeera kusolooza era ne bwasula nga talina sukaali, akeera kumugula kuba bakasitoma be tebeewola.
Waliwo abantu abalala abataddeebifo ebisanyukirwamu n'ebitegeka emikolo naddala abalina enzigya engazi obulungi. Kye bongeramu kimu kuzimba kaabuyonjo z'ebweru ez'omulembe ne pavilion nga bayoola ssente.
Jane Namutyaba ow'e Kasubi yagambye nti yawalirizibwa okuzimbawo ebisenge bisatu mwalabirira abaana be bamulekera nga bazadde baabwe bagenze okukola.
Kino kimuyambye nnyo okugaziya ennyingiza awamu n'okuwa abalala emirimu. Yafunayo abakazi babiri ku kyalo abamuyambako ku baana era obulamu butambula.
Ye Blasio Nalumoso ow'e Nansana-Ganda agamba yasooka kuteeka waka paakingi naye bwe yalaba ng'ebyokwerinda tebimala n'akyusa n'ateekawo ekyolezo ky'emmotoka.
Mu kiseera kino buli lunaku akung'aanya n'afissa 30,000/- ng'amaze okutoolako ez'amazzi n'abakozi.
Olw'enkulaakulana eri mu kibuga , Nalumoso agamba waliwo ebitundu ebitakyanyuma kusulamu olwattabulu era nga kibeera kyamagezi okussaawo bizinensi etuukana n'ekifo olwo n'ofuna ekifo ekirala ekisirifu okwebakamu.
Waliwo n'abantu abakuze ng'abaana babalekawo nga tekikyalina makulu kubeera mu nju nnene bokka. Kibeera n'amakulu okugissaamu ekintu ekirala ekiyingiza ssente olwo ne bafuna ekifo ekitonotono mwe basobola okuwummulira nga bwe bafuna ne ‘pensoni' yaabwe okuva mu nnyumba.
Mu byonna Luyimbaazi agamba nti kirungi okukozesa abakugu mu kukyusa ekifo kikuyambe okukozesa obulungi ekifo n'obutayonoona mbeera ya kifo. Ekifo bwe kiba kikwatiddwa bulungi kisobola okuddamu ne kikozesebwa omulimu omulala nga tewali kikitaataganyizza.
No Comment