Asiika obulamu ; Obusigo bw'epaapaali busala omugejjo n'emigaso emirala 9!
Aug 24, 2024
Obusigo bw'epaapaali bukuuma obutoffaali bw'omubiri nga bulamu bulungi kuba bulimu ebirungo ebiyamba okutaasa obutoffaali bw'omubiri obutakosebwa buwuka obugulumba.

NewVision Reporter
@NewVision
Dr. Arafat Mpiima, omusawo omukugu mu kunoonyereza n'okujjanjabisa eddagala ery'obutonde akolera ku Infinity Beauty Home e Kyengera, agamba nti, eppaapaali lijjanjaba endwadde nnyingi omuli ;
Emigaso gy'obusingo bw'epappaali
• Bukuuma obutoffaali bw'omubiri nga bulamu bulungi kuba bulimu ebirungo ebiyamba okutaasa obutoffaali bw'omubiri obutakosebwa buwuka obugulumba.
• Buyamba mu kusa kw'emmere n'okukuuma ebyenda nga biramu bulungi n'omuntu okweteewuluza obulungi olw'ebiwuziwuzi ebisangibwamu, era nga kiyamba okwoza obutwa mu mubiri. Omupaapaali bwe gufaanana.
• Bukendeeza obuzito n'okusala omugejjo nga kino kiyamba n'okuziyiza puleesa, olw'ebiwuziwuzi ebirimu.
• Kikendeeza ku mikisa gy'okulwala endwadde z'omutima, olwa ‘oleic acid' asala amasavu amabi mu mubiri asangibwamu.
• Zirwanyisa kookolo olw'ekirungo kya ‘polyphenols' ekiziyiza obutoffaali okulumbibwa endwadde ez'enjawulo, ate ne ‘isothiocyanate', ekiremesa obutoffaali bwa kookolo okutonda n'okukula.
• Bukuuma ensigo nga nnamu bu ungi. Mulimu ebirungo ebikendeeza obuzimbu oba okulunguula n'obulumi bw'ebiwundu olwa Vitamiini C n'ebirungo nga ‘alkaloids', ‘flavonoids' ne ‘polyphenols' ebirwanyisa obuwuka obutanya ebiwundu.
• Mulimu ebirungo ebitangira olususu okukaddiwa n'okulukuuma nga lunyirira.
• Bulwanyisa obuwuka obw'enjawulo obulwaza omubiri.
• Zikkakkanya obulumi bw'omukyala ali mu nsonga, olw'ekirungo kya ‘carotene' ekikendeeza ekirungo kya ‘estrogen'.
• Biziyiza omuntu okulwala obulwadde bw'ekibumba singa omira ensigo z'amapaapaali ssatu ku nnya buli luvannyuma lw 'ekiseera ekigere.
Buziyiza emmere okufuuka ey'obutwa mu mubiri kuba butta obuwuka obuleeta obuzibu buno. Mulimu ebirungo ebiyamba okutta obuwuka obuleeta omusujja gw'ensiri. Butaasa olususu lw'omu mutwe okulumbibwa endwadde ng'ebiguuna, oluwumu, situka n'endala ekikuuma enviiri nga zirabika bulungi.
No Comment