Emigaso gy'omwoloola 10 eginaayamba obulamu bwo okujjanjabibwa

Oct 27, 2024

OMWOLOOLA muti ogutera okusimbibwa mu mpya z’abantu ne gukola ekisiikirize kubanga gukula amatabi ne gakola nga minvuuli. Gulina obukoola obutono ddala era tegutera kuwanvuwa kisusse.

NewVision Reporter
@NewVision

OMWOLOOLA muti ogutera okusimbibwa mu mpya z’abantu ne gukola ekisiikirize kubanga gukula amatabi ne gakola nga minvuuli. Gulina obukoola obutono ddala era tegutera kuwanvuwa kisusse.

Omwoloola nga bwe gufaanana.

Omwoloola nga bwe gufaanana.


Mu Lungereza guyitibwa ‘Spriter bean’ ate bannassaayansi baguyita ‘entada abbyssinica’.

Omukugu Kizito Nsubuga owa College of Natural Sciences mu kitongole kya Plant Science Micro-biology and Bio-technology ku yunivasite e Makerere, ne ku Star Life Research mu Kampala, agamba nti, omwoloola gulimu ebirungo ebigufuula okuba nga ddagala okuli ‘flavonoids’ ne ‘saponins’ nga bino biyamba omubiri okulwayisa endwadde eziguluma singa omuntu agukozesa.

Okugukozesa osobola okwanika ebibajjo byagwo oluvannyuma n’obisekula n’obiteeka ku mazzi agabuguma n’onywa. Oba okukaza ebikoola byagwo n’obikolamu amajaani g’ossa ku caayi. Oyinza okugufumba n’ogunaaba oba okugunywa.

Emigaso emirala mulimu ; 
l Gujjanjaba endwadde z’obutiko okugeza nga ebiguuna n’ebisente. Alina endwadde zino osobola okufuna ebikoola byagwo n’obiyenga buli ku makya n’olweggulo n’osiimuula mu kifo ekyo ekirina obuzibu era mu nnaku ntono olususu lutereera.

l Gujjanjaba ekifuba eky’omu nda. Wano ogufumba bulungi nga togubisseeko, era singa ogunywa nga gubuguma ekifuba kino kiwona mu bwangu ddala.

l Gujjanjaba amabwa g’oku lususu y’ensonga lwaki baguteeka mu kyogero ky’omwana okutangira amabwa gonna omuli n’ennoga.

l Gukola ku bantu abalina amabwa mu lubuto omuli alusa, ng’olina okufumba omwoloola guno ne gugya bulungi era n’ogukozesa buli ku makya nga tolina kye waalidde okusobola okunyiga amabwa ago.

l Omwoloola gulimu ebiwuziwuzi nga guyamba abantu abatafuluma bulungi oba abalina embiro ne gutereeza olubuto lwabwe nga gugogola obucaafu bwonna obubeera munda.

l Guyamba okujjanjaba ‘emikono’ egiwanirira amawuggwe era abantu abafuna oba abakaluubirizibwa mu kussa oba abaziyira omwoloola gubayamba singa ogufumbye oba okukozesa ensaano yaagwo n’otereera.

l Gujjanjaba endwadde ezikwata mu bitundu by’ekyama nga kandida, n’ezo eziyita mu muwaatwa gw’omusulo. Wano osobola okugufumba n’ogunywa oba okugutawaaza buli lunaku.l Gujjanjaba okusiiyibwa kw’olususu n’ebiwundu era wano olina okufuna ebikoola byagwo n’obikozesa. Ensaano osobola okugitabula mu bizigo ne weesiiga nakyo kikuyamba.

l Alumiddwa omusota oba ekiwuka osobola okufuna ekimuli ky’omwoloola n’okiteekawo obulumi ne bukendeera nga bw’oddusibwa mu ddwaaliro.

l Guwonya ekiddukano eky’omusaayi, singa ofumba ebibajjo by’omuti guno n’onywa.

l Gujjanjaba omusujja ogw’olutentezi.

l Guyamba ku bakyala ab’embuto naddala mu wiiki ezisooka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});