Engeri y’okulwanyisaamu ebbugumu erisusse awaka
Mar 02, 2025
ENNAKU zino emboozi y’ebbugumu erisusse mu nnyumba y’eri ku mimwa gy’abantu si mu budde bwa misana wokka wabula n’ekiro.

NewVision Reporter
@NewVision
ENNAKU zino emboozi y’ebbugumu erisusse mu nnyumba y’eri ku mimwa gy’abantu si mu budde bwa misana wokka wabula n’ekiro.
Okunaaba emirundi egiwera emisana n’okusula obwereere ekiro terikyali ddagala ku bbugumu eryasituse ebiro bino. Abakugu mu by’okuzimba n’okulabirira amayumba bakuwadde ky’olina okukolera embeera eno ng’ebimu olina kubikolako ng’otandika okuzimba.
Lilian Katiso, eyakuguka mu by’okusimba omuddo n’emiti mu maka g’abantu agamba ebimera mu mbeera eno byamugaso mu kulongoosa empewo n’okuweweeza ekifo.
Mu mbeera eno kibeera kirungi okubeera n’ekimera ng’ekimuli ky’obutonde mu nnyumba. Ekisooka kiyamba okukwata enfuufu era ne kitereeza n’empewo gye mussa.
Ebweru w’ennyumba wasaana okubeerawo akalimiro k’ebimuli era ng’olina okukakasa ng’obufukirira bulungi amazzi bireme okukala. Ebimuli bwe bibeera mu nsuwa kirungi okubiteeka mu kifo ekirimu ekisiikirize.
Langi yennyini nayo ya mugaso nnyo singa obeera wettanidde ezaaka nga enjeru, pinki ne cream kuba tezikuuma bbugumu. Eyali asiigisizza langi enzikivu nga enzirugavu ne ‘maroon’ kye kiseera okulowooza ku ky’okugikyusa.
Muhammad Nsereko omukubi wa pulaani z’amayumba agamba omuntu azimba olina okufaayo okulaba ng’ennyumba eteekeddwamu siiringi kuba eyamba okukendeeza ebbugumu eriva waggulu ku mabaati.
Kirungi ennyumba okubeera n’amadirisa agawera ne litabeera limu. Kikola bulungi ng’amadirisa tegali mu kifo kimu ne gasobola okufulumya ebbugumu wabweru mu bwangu.
Bwoba wamala dda okuzimba osobola okulowooza ku bintu nga okufuna faani ne AC n’osobola okugoba ebbugumu mu bwangu. Obunene bw’eddirisa kikulu kuba kisalawo ku bungi bw’empewo eyafuluma n’eyingira ennyumba.
Abasawo bakubiriza abantu okunywa ennyo amazzi. Abasiraamu babakuutira okunywa ennyo ekiro nga bamaze okusiibulukuka, emibiri gireme kunafuwa.
No Comment