By’olina okusooka okwetegereza ku mmotoka ng’ezikidde
Mar 18, 2025
EMMOTOKA okuzikira ng’ebadde etokota kiraga nti erina ekizibu.

NewVision Reporter
@NewVision
EMMOTOKA okuzikira ng’ebadde etokota kiraga nti erina ekizibu.
David Kasozi makanika okuva mu Auto Garage e Makerere ategeezezza nti bangi kye basinga okulowooza ekivuddeko obuzibu buno kya mafuta kuggwaamu oba bbaatuule okuggwaako omuliro.
Kasozi agamba nti waliwo ebintu ebirala ebiyinza okuvaako emmotoka okuzikira okugeza;
Ppulaaga okufuna obuzibu n’etesobola kutambuza mafuta bulungi.
Akuuma akasindika amafuta “Defective Fuel Pump”, bwe kalemererwa okusindika amafuta kibeera kitegeeza nti emmotoka tesobola kusindika muliro ekivaamu ng’ezikira.
Okwonooneka kw’obuuma obusengejja empewo. Ebiseera ebisinga emmotoka ezikira ng’etambula olw’ensonga nti akuuma kano kabeera kaliko obuzibu. Emmotoka yeetaaga empewo ssinga ebeera yaakutambula bulungi wabula bw’eyingiza empewo ejjuddemu ebicaafu we bisukka obungi bigizibikira.
Okutalagga kwa ekizoosi, n’eremererwa okufulumya omukka n’okufulumya amaloboozi agava mu mmotoka okukkakkana ng’ezikidde.
Waya ezitambuza omuliro “Ignition Coil”, Omulimu omukulu ogwa siisitimu eno kuggya muliro mu bbaatule n’egutwala mu yingini. Ssinga ebeerako obuzibu kitegeeza nti omuliro tegutambula bulungi era emmotoka ebeera egenda kuzikirazikira buli kiseera.
Ssinga weesanga ng’emmotoka yo efuna obuzibu nga buno, gezaako okuzuula obuzibu we buva, si buli muntu nti alina obukugu obusobola okulaba obuzibu we buva naye kya makulu okusooka okwekebejja naawe by’osobola okumanya nga tonnagissa ku luguudo, obutataataaganya bavuzi ba bidduka balala ababeera bakozesa ekkubo lino.
No Comment