By'olina okukola ng'ozimba amazzi obutakosa nnyumba yo

Apr 27, 2025

EBISEERA bino ng’enkuba etonnya abantu bali mu nnaku olw’ebintu byabwe eby’omugaso okwonooneka olw’obunnyogovu obuli mu nnyumba.

NewVision Reporter
@NewVision

EBISEERA bino ng’enkuba etonnya abantu bali mu nnaku olw’ebintu byabwe eby’omugaso okwonooneka olw’obunnyogovu obuli mu nnyumba.

Joan Namutaawe ow’e Bbira ku lw’e Mityana yagambye nti yawaliriziddwa okusenguka mu nnyumba gyabadde apangisa olw’obunnyogovu obuyitiridde n’ebisenge okukaaba amazzi.

Wansi, Ye Ngeri Ekiveera Nga Bwe Kissibwako.

Wansi, Ye Ngeri Ekiveera Nga Bwe Kissibwako.

Ekyamutabudde kwe kuba nga Landiroodi ye alaga nti talina kyayinza kukikolera. Bwe yalabye ng’ebintu biggwawo yasenguse n’afuna ennyumba endala. Kyokka we yaviiriddewo ng’ebitanda, kabada n’ebirala biwumbye.

Yinginiya Vicent Katende owa Treasure Consults agamba nti obuzibu buva ku nsobi ezaakolebwa oluberyeberye nga bazimba ennyumba. Oluusi weesanga ng’ennyumba z’ekika kino tebaateekayo kaveera wansi omusingi we gukoma.

Bwe baba baakateekako kayinza okuba tekaatereerako ekiyamba amazzi okukayitamu. Ne bw'oba otaddewo akaveera olina okukakasa ng’olubalaza luli wansi w’omusingi gw’ennyumba we gukoma okwewala ebizibu.

Wansi, Ye Ngeri Ekiveera Nga Bwe Kissibwako.

Wansi, Ye Ngeri Ekiveera Nga Bwe Kissibwako.

Katende agamba mu mbeera nga wamala dda okuzimba kyolina okukola kwe kutema pulasita ku bisenge ne muddamu okuzimbisa ebika bya seminti ebiri ku katale ebitayitamu mazzi.

Osobola n’okukozesa langi zennyini kuba weeziri ezitayitamu mazzi era ng’ekisenge tekiyinza kunnyukirira. Ate asangiddwa ng’oli mu kuzimba kakasa ng’ennyumba ogisitula okuva ku ttaka waakiri koosi ssatu oba nnya, olwo amazzi tegabeera mangu kuyingirira.

Bwobeera tonnayiwa siraabu wansi wonna kakasa ng’otaddewo akaveera bulungi kuba omugaso gwako kuziyiza mazzi agava mu ttaka obutayambuka. Fred Mutyaba ow’e Nakulabye agamba ebisenge by’ennyumba.

ze byali binnyukirira budde, okutuusa lwe yafuna omuntu eyamuwa amagezi okusooka okuyiwa siraabu okwetoloola ennyumba yonna ng’omaze okuzimba omusingi.

Enkola eno wadde abamu bagitya nga balowooza nti ya buseere erina kubeera ku bazimba kalina bokka, kyokka ye Mutyaba emuyambye nnyo. “Olumu n’abazimbi bennyini baba tebakifuddeeko, naye olw’okuba nkimanyi nga

nnannyini nnyumba, mbagamba tuyiwe ssiraabu enju yonna era kintaasizza kuba mbeera siddaabiriza nnyumba buli kiseera nga bwe kyalinga” Rt Rev Moses Banja Mutyaba bw’agamba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});