Ayagala okuwangaala mu kisaawe weekwate ebikajjo
Apr 28, 2025
ABANTU bangi balya ekikajjo lwa kuwoomerwa ssukaali akirimu awatali kumanya migaso gikifumbekeddemu egy’okuziyiza n’okujjanjaba endwadde. Kino mu Lungereza, kiyitibwa ‘sugarcane’, ate bannassaayansi bakiyita ‘saccharin o cinarum’.

NewVision Reporter
@NewVision
ABANTU bangi balya ekikajjo lwa kuwoomerwa ssukaali akirimu awatali kumanya migaso gikifumbekeddemu egy’okuziyiza n’okujjanjaba endwadde. Kino mu Lungereza, kiyitibwa ‘sugarcane’, ate bannassaayansi bakiyita ‘saccharin o cinarum’.
Dr. Kizito Nsubuga, omunoonyereza ku muddo n’emmere ey’enjawulo mu kitongole kya College of Natural Sciences mu Makerere University, annyonnyola emigaso gy’ekikajjo gy’otolina kusubwa ku lw’omubiri omulamu.
Ebikajjo Ku Ssamba.
Emigaso giigino ;
Kirimu Vitamiini C ayamba okugumya abaserikale b’omubiri abalwanyisa endwadde eziba zigulumye.
Ekikajjo kirimu ekirungo kya potassium n’ebiwuziwuzzi ebiyamba mu kukuba obulungi emmere mu lubuto n’okululongoosa naddala abafuna obuzibu bw’okwesiba nga tebafuluma bulungi.
Omusajja bw’anyiikira okulya ebikajjo byongera obungi bw’ekiriisa ekizimba omubiri ekiyamba okutangira endwadde ng’okuzimba kw’akatungulu k’abasajja (prostatitis) ne yinfekisoni ez’omu musulo.
Kyoza obucaafu n’obutwa mu mubiri olw’ebiwuziwuzi, Vitamiini C ne ‘fl avonoids’. Omubisi gw’ekikajjo gukola amazzi agamala mu mubiri agayamba mu kukola omusulo ogufulumiramu obutwa okuva mu mubiri.
Ekikajjo kirungi ku bakyala b’embuto. Kirimu ebirungo nga potassium, calcium, magnesium, iron ne folate, ebiyamba mu kukula kw’omwana mu lubuto. Kirina Vitamiini C, akuuma omubiri gw’omukyala w’olubuto nga mulamu bulungi wamu n’okumuwa amazzi agamala.
Ekikajjo kirimu Vitamiini B6 ayamba okutereeza obusimu naddala mu basajja abatafuna bwagazi oba bayite ba ‘nsindikanjake’.
Calcium, magnesium ne phosphorus ebiri mu kikajjo biyamba okugumya amagumba n’amannyo.
Ekikajjo kirina ekirungo bya Calcium ne Magnesium, ebiyamba abasajja abafuna okumenyekamenyeka n’entunnunsi nga batuukiriza emirimu gyabwe, n’abo abaatomerwa endiga, ssaako okubawangaaza mu kisaawe.
Ekikajjo kirimu ebirungo bya ‘glycolic’ ne ‘alpha hydroxy acids’ ebiriikiriza olususu n’okulutangira okukaddiwa amangu.
No Comment