Emboozi

SSESSANGA: Yatandika n’embizzi 10 kati aweza ezisoba mu 150

OKULUNDA embizzi kundi mu musaayi kuba kitange Dezidaaliyo Kakembo eyeebase e Bakyabazaala-Kayunga yalinako embizzi ezisoba mu 10,000 mu myaka gya 1970 kyokka nga tuzitemera bikoola bya mituba kuba gyaliwo nga mingi ddala.

Omukozi wa Ssessanga ng’afuuyira embizzi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OKULUNDA embizzi kundi mu musaayi kuba kitange Dezidaaliyo Kakembo eyeebase e Bakyabazaala-Kayunga yalinako embizzi ezisoba mu 10,000 mu myaka gya 1970 kyokka nga tuzitemera bikoola bya mituba kuba gyaliwo nga mingi ddala.
Mu mboozi y’olugendo lw’okunoonya abawanguzi b’empaka z’Omulimi Asinga 2026, ezitegekebwa Vision Group ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne ziwagirwa bbanka ya dfcu, kkampuni ya KLM ne Koudijs BV, HERBERT MUSOKE akuleetedde emboozi ya George William Ssessanga Kakembo ng’anyumya engeri gy’alunda embizzi ezikyusizza obulamu bwe.
Ssessanga agamba nti, yatandika ffaamu ye eya Blessed Farm ku kyalo Kiggala-Kiwenda nga yatandika n’embizzi 17 nga kuliko enkazi 10 n’ennume 7 wabula leero aweza ezisoba mu 150.


Agamba nti, bwe yafuna ekirowoozo n’ayogerako ne mukwano gwe Dr. Sam eyamutwala e Nangabo ku ffaamu ya Dr. Diana e Nangabo-Kasangati kw’ossa endala ze yagula e Bulamu-Gayaza ekika kya Cambragh ennume ku ffaamu y’omulunzi Herbert.
“Mbadde muzimbi omukugu era nga nnina kkampuni eya Kulabako Construction Company, wabula nagenda okulaba ng’emirimu tegikyatambula bulungi ne nsalawo okutandika okulunda,” Ssessanga bw’agamba.
ENDABIRIRA ENTUUFU
Ssessanga agamba nti, kikulu omulunzi okumanya ky’oyagala mu bulunzi bw’ogendamu kuba buli omu abeera n’ekikye nga kino kigenda kukuyamba okulonda ekika ky’ogenda okulunda.
“Okufuna mu bulunzi olina okubuyingira nga bizinensi olwo ensolo oziwe obudde. Endabirira
y’ensolo kikulu, kuba n’embizzi eziyitibwa eng’anda nazo bw’ozirabirira obulungi ogenda okulaba ng’ekola bulungi nga bw’olaba enzungu,” Ssessanga bw’agamba.
Agamba nti, kakasa nti, embizzi zo zibeera nnyonjo ekiseera kyonna. Ku ffaamu ye azinaaza emirundi esatu olunaku n’okwoza ekiyumba ate ku Lwomukaaga n’azifuuyira okutta obuwuka bw’oku lususu n’ensweera.
“Obuyonjo y’engeri gye tutangira obulwadde bw’omusujja ogutalina ddagala era ffe wano wadde okusoma osasula 20,000/- ate tebakkiriza kuyingira mu biyumba era wano wassibwaawo olukomera lw’akatimba abalambula kwe bayimirira okulaba olwo ebisigadde ne tubibasomesa,” Ssessanga bw’agamba.
Mu ngeri y’emu aziriisa emmere etabuddwa obulungi nga wamu agula caccu mw’atabula n’akalungo ka Koudijs kw’ossa omuddo ate n’ebibala nga buli mbizzi enkulu erya kkiro nnya. “Ku makya ku ssaawa 3:00 kkiro bbiri ate n’olweggulo ku ssaawa 11:00 kkiro bbiri,” Ssessanga bw’agamba.
“Amazzi nago kikulu nga wano twasima oluzzi lw’omu ttaka lwe twassaamu ppampu egakuba okugenda mu ttanka olwo ne gatandika okutambula nga gayita mu payipu nga twazimba ebinyweero kuba amazzi g’enywanto embizzi zigoonoona olw’okuba agasooka gabeera gabuguma ng’egayiwa nga bwerinda agannyogoga,” Ssessanga bw’agamba.

AKATALE
Ssessanga agamba nti, embizzi ze aziguza abantu bonna okuli abasala ate n’abagenda okulunda b’aguza abaana kuba embizzi alina za lulyo.
“Wadde nga bonna mbaguza naye saagala nnyo kuguza
Omukozi wa Ssessanga ng’afuuyira embizzi.
bagenda kusala kuba tebaliimu ssente. Embizzi eri mu kkiro 100 ayagala kugikuwaamu 500,000/- kyokka ng’obeera ogirabiridde okumala ebbanga ng’ogissaamu ssente. Gye buvuddeko nalinako embizzi 920 nga nnindako akatale okutereerako,” Ssessanga bw’annyonnyola.
Agamba nti, wabula ate abalunzi bo balimu ssente kuba embizzi ey’emyezi esatu agitunda 800,000/- oluvannyuma lw’okubasomesa kuba agamba nti , kikulu omulunzi okusooka okumusomesa ayige ky’ateekeddwa okukola obutafiirizibwa.
Agamba nti, bw’alunda embizzi tasukka myezi munaana okuzitunda ku kakadde, embizzi ey’eggwako ebeera ya bukadde bubiri ate ezikaddiye 1,500,000/- ng’okutwaliza awamu atunda embizzi 200.

Christine Kakembo.

Christine Kakembo.


ABAKOZI
Ssessanga agamba nti, alina abakozi basatu nga bano abasasula 200,000/- omwezi mu kiseera nga waliwo emirimu mingi naddala ng’embizzi eziwera zizadde nga mu kiseera kino abakozi basula batunula okukakasa nti, abaana tebafuna buzibu ate n’emisana.
FFAMIRE
Christine Kakembo, mukyala wa Ssessanga agamba nti, ffaamu eno eddukanyizibwa nga bizinensi ya ffamire nga n’abaana beenyigiramu. Agamba nti, bonna bafunayo akasente singa beenyigira mu mirimu okusobola okubasikiriza n’okubalaga nti, okulunda kulimu ssente.
OKUGASA EKITUNDU
Kakembo agamba nti, eky’ennaku abantu abamuliraanye tebaagala kwenyigira mu kulunda mbizzi nga balowooza nti, okulunda kwa bagagga, mpozzi okusaba obusa okugenda okugimusa ennimiro zaabwe ng’abasinga bagamba nti, bakyeteekateeka baagala ng’ebibye.
“Waliwo n’abantu be tuwa embizzi okutandika okulunda okwali n’omukyala eyalagibwa ku Gataliiko Nfuufu nga bba amuwalaawala olw’okutunda enkoko ne mmusuubiza embizzi, kyokka bwe namuwuliza yantegeeza nti, ngivuge ngimutwalire. N’abalala bajja ne mbawa embizzi ne zituuka kuzaala ne bantegeeza nzitunde mbaweereze ssente,” Ssessanga bw’agamba.
“Wabula ekitundu king’anyuddwaamu olw’amasannyalaze ge nnaleeta bwe nnali nzimba kuno mu 2016 era ekyalo kifunamu,” Ssessanga bw’agamba.
OKUSOOMOOZEBWA
Ssessanga agamba nti, akatale kusoomoozebwa kwa maanyi kuba mu kulunda tebawola mmere ng’olina kuyimirira ku nsawo, kyokka abaguzi ne bakudondola nga balinga abalowooza nti, tolina ky’ossaamu.
OKUKWATA OBUSA
Obusa bw’embizzi buli ku katale kuba tebuzaala biwuka ng’abalimi babwettanira okubukozesa mu nnimiro zaabwe. “Tubukung’aanya mu kifo kimu we tububikkira ng’ayagala w’abuyoola nga ka ttipa tukatunda wakati wa 250,000/- ne 300,000/- ng’abalimi b’enva endiirwa gamba ebbugga be basinga okubugula,” Kakembo bw’agamba.
Ssessanga ng’alaga emu ku mbizzi ze eri eggwako.
Christine Kakembo