GAVUMENTI etongozza enkola eneegobererwa amasomero agasomesa abaana abato mw’eweredde abatannaweza myaka 6 okukeeranga ku masomero n’okusomera mu bisulo.
Enkola eno w’ejjidde ng’abaana abato bangi batwalibwa ku ssomero ng’obudde tebunnakya ne kikosa obwongo olw’okukoowa ekisusse. Abamu balabwako ku maliiri ku boda nga n’abatambulira mu mmotoka bagenda basumagira.
Omu ku baabadde mu mitambo gy’okubaga enkola eno Dr. Safina Mutumba nga y’amyuka kaminsona mu ministule y’ebyenjigiriza, yagambye nti kati abaana abatasussa myaka 6 balina okugenda ku ssomero ku ssaawa 2:00 ez’oku makya ate baveeyo ssaawa 6:30 mu ttuntu.
“Enkola eno era yaakuyamba buli mwana okufuna obuyambi obw’ekyenkayi kuba wabaddewo okusosola mu baana naddala abaliko obulemu era tugenda kweyambisa ebyuma bikalimagezi okusomesa abaana,’’ bwe yategeezezza.
Yagasseeko nti omwana alina okutwalibwa mu masomero ga nassale afune omusingi omunywevu mu byenjigiriza. Mu kutongoza enkola eno eyatuumiddwa National Launch of the Early Childhood Care and Education Policy 2025, minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni mu bubaka bwe yatisse minisita omubeezi ow’ebyenyigiriza ebisookerwako Moriku Kaducu yakubirizza abazadde obutagayaalirira baana kuba ye Uganda ey’enkya.
Yagambye nti nga bayita mu minisitule ya Gavumenti z’ebitundu, baakussa mu nkola ennambika eyatongozeddwa nga buli muntu n’ebitongole ebikwatibwako, bikwatira wamu abaana basomere mu bifo nga tebatya bulabe buyinza kubatuusibwako.
Yatangaazizza nti minisitule y’ebyenjigiriza tevunaanyizibwa ku bifo omukuumirwa abaana abato ‘Daycare Centers’ nti ministule etwala abakozi n’ekikula ky’abantu y’ebitwala kuba ago si masomero.
Minisita Kaducu yategeezezza nti obwongo bw’omwana businga kukula nga tannaweza myaka 5 nga y’ensonga lwaki Gavumenti etongozza enkola eno abaana bafune omusingi nga tebannayingira pulayimale.
Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo babadde tebakola buvunaanyizibwa bwabwe nga kati baakutegeezebwa nti kibakakatako okulaba nga buli
mwana afuna okusoma okusookerwako. Abamu tebabadde na kulung’amizibwa nga n’abalala abatali babangufu bakwata ku baana nga tebalina bukugu.