EKIRI ku mimwa gy’abantu b’e Mityana mu kibuga kya kabinja k’abavubuka abeeyita ‘ Abasayika’. Bano batadde ekitundu ku bunkenke olw’effujjo nga bakozesa mmotoka ne pikipiki bye bavuga endiima nga beeraga bwe balina ssente n’obuyinza. Emmotoka ezivugibwa Abasayika za kika kya: Mark X, Subaru, ne pikipiki ennene nga bazivuga ng’abali mu z’empaka.
Abasayika bavuddeko obubenjene bufiiramu abantu n’abalala ne bagendera ku bisago eby’amaanyi.
Akabenje akaasembyeyo omu ku baafudde yategeerekese nga Catherine Nakato,20, abadde omusuubuzi mu katale e Mityana. Abaalumiziddwa kwabaddeko Betty Nakiyingi, Carol Namatovu, Mary Babirye,46, ne mutabani we Jefferson Nyanzi,23. Bano baakoneddwa Ismail Kiweewa eyabadde avuga Mark X nnamba UBN 773 L.
POLIISI ETANGAAZIZZA
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Wamala, Lameck Kigozi yagambye nti, bakyanoonyereza kun kabinja kano nga baagala kuzuula bantu kika ki, ssente baziggya wa era kigendererwa kyabwe kiki.Kigozi yagambye nti, wadde kati abakuumaddembe bataddemu amaanyi babadde tebasirise nga bazze balondoola embeera za kabinja.
“Abamu ku bo kituufu bavuga bubi, naye abaserikale baffe oli olumuwa lisiiti ng’azzizza omusango asasula busasuzi ssente enkeera ng’adda ku luguudo,” bwatyo Kigozi bwe yatangaazizza.
Yagumizza abatuuze nti, embeera eno ekomye kuba kati gwe banaakwatira mu nsobi emirundi egisukka mu gumu mu bbanga ttono ajja kutwalibwa mu kkooti, aggyibweko pamiti okumala ebbanga.
OBUBENJE BWEBAZZE BAKOLAKu nkomerero ya ttaamu ewedde, waliwo abaana abaakoonebwa e Wabigalo nga bava ku ssomero badda awaka, era bana ku bbo baasibira ku bitanda okumala ebbanga.
E Mizigo mu Mityana, waliwo omwami abadde amanyiddwa nga Taata Ben baamutta omwezi oguwedde bwe yali adda ewuwe e Katakala. Ku kyalo kye kimu e Mizigo waliwo omuvubuka omubazzi gwe baakoona bwe yali ava okugula embaawo ng’agenda kutuuka ku bajjiro lye era ne bamuttirawo.
RDC AYOGEDDE Omumyuka wa RDC e Mityana, Prossy Mwanjuzi yagambye nti, bagenda kutandika ebikwekweto ku Basayika, bagobwe mu Mityana, abasangibwa mu bumenyi bw’amateeka bavunaanibwe. “Kyangu okubamanya kubanga tumanyi bwe bambala, bwe bafaanana naddala ebiviiri, emmotoka ze bavuga n’ennyumba ze bapangisa,” bwatyo bwe yagambye