Emboozi

Olufuna akabonero k’omusujja genderawo mu ddwaaliro

Okugema ly’ekkubo eddalagavumenti ly’ekutte mu kuziyiza omusujja gw’ensiri. Lwakuba kati eddagala eririwo ligema baana abali wansi w’emyaka etaano bokka kuba be basinga okuyisibwa obubi, naye nga n’ery’abakulu bagenda kulinoonyerezaako nabo batandike okugemebwa.

Akaddo ka Loozimeere kagoba ensiri.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Okugema ly’ekkubo eddalagavumenti ly’ekutte mu kuziyiza omusujja gw’ensiri. Lwakuba kati eddagala eririwo ligema baana abali wansi w’emyaka etaano bokka kuba be basinga okuyisibwa obubi, naye nga n’ery’abakulu bagenda kulinoonyerezaako nabo batandike okugemebwa.
Omwana alina okufuna ddoozi nnya (4), ng’esooka agifunira ku myezi mukaaga ne wayitawo omwezi gumu n’afuna ddozi eyookubiri. Wabula ddoozi eyookuna agifuna oluvannyuma lw’omwaka gumu okuva lwe yafunidde ddoozi eyookusatu. Ddoozi essatu ezisooka ziwa omwana obukuumi eri omusujja gw’ensiri okumala emyaka ebiri, ate ddoozi eyookuna n’emwongera obukuumi obuli wakati w’emyaka 3-4.

Basuubira nti, gye bujja bayinza n’okubongeranga ddoozi eyookutaano, naye kati ka bagira babawaako eddagala ery’emyaka egyo.
lBali mu kunoonyereza kubyennyanja ebirya ensiri, wamun’enkola y’okulaawa ensiriensajja.
KAWEEFUBE W’ABANTU BA BULIJJO ERI OMUSUJJA
Ng’oggyeeko gavumenti, Dr. Nabakooza agamba nti, n’omuntu owaabulijjo olina ky’osobola okukolawo mu kutangira omusujja gw’ensiri ng’osinziira awaka wo. Ku by’osobola okwekolera kuliko;
1 Okwewala okuzimba mu ntobazi,eno y’ewabeera amazzi ensiri gye zaalulira.
2 Okussa obutimba mu nzigin’amadirisa g’ennyumba.
3 Amadirisa n’enzigi okuziggaalangawo akawungeezi nga bukyali.
4 Okusimba emiti n’omuddoogulimu ebirungo ebigoba ensiri ng’ekisubi kya caayi, loozimeere, kkalittunsi, n’ebirala.
5 Okusaanyaawo ebidiba, n’ebicupa ebiregamamu amazzi nga kw’otadde n’okusaawa ensiko eyeetoolodde awaka.
6 Okugulayo ku kuuma akafuuyira eddagala erigoba ensiri.
OBUJJANJABI BW’OMUSUJJA
Dr. Lugemwa akakasa nti, eddagala liwonya omusujja gw’ensiri. Wabula bw’owuliramu akabonero konna k’olowooza okubeera ak’omusujja, tewejjanjaba wekka, olina kudduka bunnambiro mu basawo ne bakwekebejja okukakasa oba ddala ogulina.
Ekirala, olina okwanguyira omusujja okugutwala mu ddwaaliro, ate bwe bakuwa eddagala olina okumira ddoozi yonna n’ogimalayo wamu n’okugoberera ebiragiro by’abasawo byonna bye bakuwadde

Tags: