Emboozi

Omusujja gw’ensiri gwongedde okwegiriisa mu bizinga

DISITULIKITI y’e Kalangala y’emu kw’ezo ezitawaanyizibwa omusujja gw’ensiri olw’okubeera n’ebifo omulegama amazzi ebingi omwalulira ensiri.

Omusujja gw’ensiri gwongedde okwegiriisa mu bizinga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

DISITULIKITI y’e Kalangala y’emu kw’ezo ezitawaanyizibwa omusujja gw’ensiri olw’okubeera n’ebifo omulegama amazzi ebingi omwalulira ensiri.
Ebimu ku bifo bino mwe muli amaato amakadde agalegamamu amazzi okumala ebbanga eddene, ebidiba, ensiko eziriraanye embalama z’ennyanja era nga nazo zanjaaliddemu amazzi ssaako entobazi.

Okusinziira ku bibalo ebiva mu ofiisi ekung’aanyizibwamu ebivudde mu malwaliro, we butuukidde olwaleero nga ku bantu 15,392 abateeberezebwa okubeera n’omusujja gw’ensiri 13,126 be bakebeddwa okwetooloola amalwaliro agali mu bizinga okuva ku ntandikwa y’omwaka.
Ku bakebeddwa abantu 3,964 be basangiddwaamu omusujja guno nga be bantu 30 ku 100.
Omusujja guno gusinga kukosa baana abali wansi w’emyaka etaano n’abakyala abali embuto.
Kati nga omu ku kaweefube ow’okutangira omusujja guno okusaasaana Gavumenti ewadde Abalunnyanja obutimba 47,600.
Ng’ayaniriza obubaka buno, omumyuka w’omubaka wa Pulezidenti, Henry Ssebunya ategeezezza nti, Gavumenti eri ku kaweefube wa kumalawo musujja gwa nsiri era asabye abantu obutabujaajaamya.
“Si bwa kwanikako mukene wadde ebyennyanja ate si bwa kutunda era gwe tunaakwatako ng’akikoze amateeka gajja kumuvunaana,” Ssebunya bw’agamba.
Akulira abakozi ku kitebe kya disitulikiti, Richard Ssebandeke yagambye nti, buli maka ga kufuna

Tags: