Emboozi

Bayodde abatigomya Kampala, Wakiso ne Luweero

POLIISI y'e Luweero eyodde abayigganya abantu mu Luweero, Wakiso ne Kampala. Kigambibwa nti ng'oggyeeko okunyaga, bano bakwata abakazi kwe bagatta n'ebikolobero ebirala.

Abaakwatiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI y'e Luweero eyodde abayigganya abantu mu Luweero, Wakiso ne Kampala. Kigambibwa nti ng'oggyeeko okunyaga, bano bakwata abakazi kwe bagatta n'ebikolobero ebirala.
Abaakwatiddwa kuliko; Umar Kigenyi 21, amanyiddwa nga Ian ow’e Kagoma mu Wakiso, Reagan Kalyango 24, amanyiddwa nga ‘Mylord’, ng'abeera Lwadda-Matugga ne Ismail Ssenyonga 19, eyeeyita Kasagama ow’e Matugga. Abalala kuliko; Frank Kasagga 21, amanyiddwa nga Champion, ow'omu Kito-Matugga ne Hussein Muteesaasira, ow'e Kigoowa-Matugga.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, bano okukwatibwa kyaddiridde poliisi okufuna okwemulugunya okuva mu bitundu okuli; Kakinzi, Kiwoko-Nakaseke, Kasoma, Kasana, Mabaale, Ngogolo, Wobulenzi, Butuntumula, Kiwogozi, mu disitulikiti y’e Luweero. Kw'ogatta n’ab'e Wakiso mu bitundu nga; Masajja-Kibiri ne Ggangu ku lw’e Busaabala, Matugga, Maganjo, Soweto, Kagoma ne Kawanda.
Kigambibwa nti, abantu be bamu babadde batigomya Bwaise ne Kawempe-Ttula mu Kampala, nga babakuba ppeeva, okubakwata embadiya, n’okumenya amayumba.
Bino we bijjidde, ng'omu ku bagambibwa okuduumira akabinja kano (Black) yattiddwa nga August 14, 2026 e Najjanankumbi ku lw'e Ntebe ng'ali ku ssimu.
Bannaabwe okuli amanyiddwa nga ‘Dog City’ ne ‘Kim Yo’ baakwatibwa Flying Squad e Luweero, ne basindikibwa ku alimanda mu kkomera e Butuntumula.
ABALOZEZZA KU BUKAAWU BWABWE BOOGEDDE:
l Nyamek Buom, ow’e Kiwogozi mu Luweero yategeezezza nti, baabayingirira ne babba ttivvi n’amasimu.
lAisha Namukwaya, ow’e Mabaale, agamba nti baamuyingirira ne bamubba.
lPaasita Jimmy Ebong, agamba, baamuteega ne bamubbako obukadde musanvu n’aggulawo omusango ku poliisi y’e Luweero ku fayiro SD 12/06/08/2026. lMargaret Kiwendo, yagambye, ekibinja kino kyateega bba Painento Kiwendo Lwanga ne bamubbako obukadde mwenda e Kikubajjinja mu Luweero nga bakozesa peeva n’ebijambiya. Kiwendo, akyali mu kasenge k’abayi e Kiruddu

Tags: