OKWEYONGERA kw’obungi bw’abantu buli lukya kivuddeko ettaka okulimirwa okukendeera. Kino kitegeeza nti, omulimi weetaaga okukola ebintu mu ngeri ey’enjawulo osobole okufuna ekiwera mu kitono ky’olima.
Mu mboozi za Bukedde ez’okulambika abalimi ng’abawa amagezi g’ekikugu g’okulima mu kweteekerateekera okusimba sizoni ebindabinda, Sizoni y’okusiga – “Obulimi
Bugagga”, Joseph Male owa Avail Mixed Farm e Magere mu Wakiso, agamba nti, leero tetukyali ku bugazi bwa nnimiro wabula okumanya ky’oteekeddwa okukola ekigenda okukuyamba okufuna amakungula agawera ate n’okugaziya ennyingiza.
Okulonda ky’ogenda okulima: Abasinga abalina obufo obutono balowooza ku kulima enva endiirwa, kyokka tewandirimye nva nga jjobyo, doodo, entula n’ebirala kuba tezirina bbeeyi nnungi. Wandibadde olima eby’ebbeeyi nga lettuce kuba obirimira mu kifo kitono naye ofuna ekiwera. Okugeza buli kikolo kya lettuce kisobola okugulwa wakati wa 1,500/- ne 2,000/-. Ate nga singa ofuna obutale nga wooteeri, ebirabo by’emmere, supamaketi n’ebirala oyinza okutuuka mu 3,000/- okusinziira ku mutindo gw’ebirime byo. Ayagala okulima ennyaanya, wandibadde weekwata obunyaanya obutono nga buno kkiro egula okutuuka ku 20,000/-, kyokka wadde bwa bbeeyi
akatale kaabwo katono. Ensigo: Okulimira awafunda kitegeeza nti, weetaaga okwongera obungi bw’amakungula okuvuganya n’alina ekigazi.
Okugeza singa osimba ekika kya kasooli nga Bazoka osobola okufuna amakungula agakubisa mu yasimbye owa bulijjo emirundi ebiri nga kitegeeza nti, bw’obeera walimye kitundu kya yiika wenkana alimye yiika ennamba. Okubala sizoni : Olw’okuba olina ekifo kifunda, wandibadde ate tolimira mu budde bwe bumu n’abalina ebifo ebinene osobola okutuusa by’okungudde nga bbeeyi eri waggulu.