MU bannabyanfuna abaaliwo nga Uganda yeefuga, mwe mwali ne Ssebaana Kizito eyalina emyaka 28 mu 1962 nga mu budde obwo yali mukungu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mirimu gya gavumenti egivaamu ssente, ng’omusingi gwe yasima nakati gukyavaamu ebibala.
Osobola okumwogerako ng’eyazaalibwa mu kaseera akatuufu, n’agenda mu masomero amatuufu, n’atandikirawo okukola era mu 1966 olw’okuba obwongo bwali bumwesera, yaweebwa obwa dayirekita mu Bbanka Enkulu ey’eggwanga.
Yali omu ku Bannayuganda abaalina ssente naye nga tebawulirwangako mu bulyi bwa nguzi, nga yalya Obwammeeya wa Kampala okuva 1999 okutuuka mu 2005 era yafa talese bbanja ku nsi.
Yalina obukugu obw’enjawulo okuva mu ttendekero erisomesa ebya yinsuwa erya Institute of Finance mu Switzerland.
Wadde yafa mu 2017 ku myaka 83, munnayinsuwa munne William Kiwanuka yasobodde okubuulira BUKEDDE bye baayitamu ne Ssebaana okukuza ekisaawe kya yinsuwa mu ggwanga.
Kiwanuka agenderedde mu myaka, yalina emyaka 20 nga Uganda yeefuga era waayita emyaka ebiri gyokka, munne Ssebaana mu 1964 n’aweebwa okubeera maneja wa yinsuwa eyayitibwanga Crusader Insurance eyali ey’Abazungu.
Kiwanuka naye yali muweereza mulungi mu National Insurance Company (1970-1976) eya gavumenti, era bwe baagatta obwongo n’obukugu bwe baali bafunye mu yinsuwa ezo ebbiri, ne batandika eyaabwe STATEWIDE Insurance Company (SWICO) nga ye yinsuwa y’obwannannyini eyasookera ddala mu ggwanga.
Baagitandika mu 1982 wakati mu lutalo olwaleeta gavumenti ya Pulezidenti Museveni mu buyinza.
Kiwanuka annyonnyola nti,embeera entuufu ey’okukola ekituufu y’eyo abalala we balowooleza nti, tekisobola kukolebwa. Mu lutalo kyali kiseera kituufu nga kiyamba yinsuwa kubanga ebyonoonese mu lutalo yo tesasula.
Ebimu ku byayamba kkampuni yaabwe okukula, bwe butafaayo bwe yali kaminsona mu minisitule y’ebyensimbi eyali avunaanyizibwa ku yinsuwa eyali ‘omwebafu’ ng’olumala okugiwandiisa talondoola mirimu gy’ekola, so singa bwe kiri kati nti, yinsuwa zirina ekitongole kiramba ekizirondoola.
Kino kyabaleetera okubeera bakyetwala nga tewali kitongole kya gavumenti kibakuba ku mukono nti, oluusi baagananga n’okusasula abantu abalina okusasulwa ne wabulayo abassa ku nninga.
Ssebaana okuweebwa obwaminisita w’ebyobwegassi n’obutale mu 1985 kyayamba nnyo kkampuni yaabwe okugisaggulira n’okwongera okugyesiga mu bantu naddala abanene abaali mu gavumenti ekyamuyamba n’okuyisangawo ddiiru eziva mu gavumenti ng’asika azza wuwe.
Olw’okuba Uganda yalietaaguddwa olutalo, kkampuni yaabwe yabeerawo nga yeesigama ku Posita Uganda okutambuza amabaluwa ne ssente eri abakozi n’abaali bakasitoma mu SWICO nga baasasulanga ssente ntono kw’ezo entuufu ezirina okusasulwa okubatambuliza ebitereke.
Okubeera abakulembeze ba Uganda Insurers Association, ekibiina ekigatta abalina yinsuwa nga Kiwanuka yakwataobukulu mu 1989, kyayongera okubanguyiza emirimu nga beesaggulira buli kirungi.
Mu 1989, Ssebaana yali aweereddwa okubeera minisita w’amayumba n’ebibuga era n’akozesa omukisa ogwo okubeera mpagi luwaga mu kuleeta etteeka erikaka buli kidduka okusasula yinsuwa egenderera okusasula abantu ababeera bafunye obuzibu mu bubenje era nga gavumenti nakati efuna obuwumbi obusukka mu 20 buli mwaka wadde nga ne yinsuwa mu nkola eno ziyooleramu omudidi.
“Ne pulezidenti Amin okugoba Abayindi abaali bannannyini yinsuwa ezaaliwo ebiseera ebyo kyatuwa omukisa okwegazaanya ng’ekisaawe tukirimu batono”, Kiwanuka bwe yannyonnyodde.
Wabula wakati mu kukuza yinsuwa yaabwe, baasanga okusoomoozebwa okutagambika okubuzeeko katono n’okubagoba mu mulimu okugeza yinsuwa z’Abayindi ezaasokawo, zaali zaayonoona erinnya lya yinsuwa.
Bwe wafunanga akabenje nga bamanyi okujja n’eccupa ya bbiya ne bagissa akabenje we kaagudde ne bakuwaayiriza nti, wabadde otamidde nga tebaagala kukuliyirira abantu ne bazeetamwa.
Abantu baali tebamanyi bya yinsuwa nga n’abafuna yinsuwa abasinga balagajjala nga balowooza nti, bajja kumala gasasulwa ekitali kituufu nga bw’otobasasula bagenda bakwogerera nti, yinsuwa yammwe nzibi.
Abamu bakola obuyaaye ne bapanga obubenje oluusi ne bakolagana ne polisii n’ewandiika lipooti eterintuufu okugeza nga bawandiika nti, baafudde abantu bataano kyokka nga mwafuddemu omu ne babaleetera okufiirizibwa.
Abamu ebizimbe byabwe babiteekera omuliro nga tulina okukola okunoonyereza okw’amaanyi kyokka oluusi abalina okunoonyereza ate bakwatagana ne bannannyini bizimbe era ne batubba.
Mulimu ababba emmotoka ze babeera batadde mu yinsuwa ne bazitwala emitala w’amayanja nga baagala kkampuni esasule. Kyokka waliwo n’ezibbibwa ebyaddala okugeza, mu 2005 waliwo eyajja n’emmotoka ye okugissa mu yinsuwa era n’agireka wansi mu ppaakingi. Bwe yamala okusasula ne bamukwasa n’empapula ezikakasa nti, asasudde okuddayo we yalese emmotoka nga bagibbye era yinsuwa yasasula.
Wadde okusoomooza kwe bayiseemu nkumuliitu, Kiwanuka agamba nti, kwe batagenda kwerabira kwekwo okubaddewo mu 2020 obulwadde bwa COVID-19 bwe bwazingako ensi buli bizinensi n’eyimirira era baalina okukwata ku ssente ze baatereka edda okulaba nga bizinensi yaabwe esigala ekyatambula