Emboozi

Omulimi Asinga 2026 alangirirwa mwezi gujja

ABALAMUZI b’empaka z’Omulimi Asinga bamaliriza wiiki eno okulambula abalimi82 abaasunsulwa okulonda abawanguzi b’empaka zino abagenda okulangirirwa nga December 9 omwaka guno.

Vivien Ssempeereza ne Josephat Byaruhanga okuva ku mitebe kya Budaaki nga balambula omu ku balunzi abavuganya mu mpaka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABALAMUZI b’empaka z’Omulimi Asinga bamaliriza wiiki eno okulambula abalimi
82 abaasunsulwa okulonda abawanguzi b’empaka zino abagenda okulangirirwa nga December 9 omwaka guno.

Abawanguzi 13 be bagenda okulondebwa nga bano bagenda  kuva mu bitundu 10  byasalibwa mu ggwanga lyonna kugattibweko abalala basatu okuva mu kibinja  eky’enjawulo eky’ebibiina by’obwegassi.
Empaka z’Omulimi Asinga zitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde okuyita mu kitongole kyayo ekya New Vision Foundation mu nkola ya Vision Sustainable Agriculture (VISA) ne zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne zissibwamu ssente kkampuni y’ennyonyi eya KLM, bbanka ya dfcu ne Koudijs BV. Abalamuzi abasala empaka z’Omulimi Asinga kuliko; Victoria Ssekitoleko abakulira era nga yaliko minisita w’obulimi, obulunzi n’obuvubi, Polof. Ogenga Latigo, eyaliko omubaka wa Palamenti era  omulimi mu disitulikiti ya Agago.
Abalala ye Augustine Mwendya omukugu mu bulimi eyawummula,Dr. Emma Naluyima omusawo w’ebisolo era omuwanguzi w’empaka z’Omulimi Asinga2014 era nnannyini One Acre Farm-Bwerenga-Entebe, Andrew Byaruhanga okuva ku kitebe kya  Budaaki mu Uganda ne Ronald Lubega owa dfcu Bank. sekitoleko, agamba nti, ng’abalamuzi kye baasoose okwetegereza kwe kuba nti, empaka z’omwaka guno zirimu abayivu naddala abaawummula egya Gavumenti nga n’abamu tebannakaddiwa ne basalawo  okuyingira obulimi n’obulunzi.
Omuwanguzi anaasinga wa kuweebwa obukadde bwa ssente  za Uganda 50, owookubiri 30 n’owookusatu 20. Ate abalala musanvu bagabane obukadde 50 nga bussibwa mu kukyusa enkola naddala tekinologiya ku ffaamu  aabwe ate bonna batwalibwe ku lugendo lw’okulambula n’okuyigira ku balimi n’abalunzi mu ggwanga lya Budaaki. Ssekitoleko agamba nti,  kino kiraga nti, empaka z’Omulimi Asinga endowooza ya Bannayuganda ekyuse okuva  ku kulowooza nti, obulimi  n’obulunzi mulimu gw’abataasoma n’abalemereddwa ensi wabula  omulimu ogusasula.
“Empaka z’Omulimi Asinga zaateekebwateekebwa mu ngeri ezifuula ez’eggwanga lyonna nga  kino kiraze abantu bonna muUganda nti, obulimi n’obulunzi bizinensi erimu ssente eza ddala  omuntu n’ateetaaga mulimu gwa ofiisi ogw’okumusasula omusaala  gw’omwezi,” Ssekitooleko bw’agamba.
Josephat Byaruhanga okuva ku kitebe kya Budaaki mu Uganda agamba nti, abalimi n’abalunzi b’omwaka guno bafubye okulaba nga basitula omutindo  okuli okukyusa  endyo eri abalunda  nga leero osisinkana omulunzi  alina ente ezisoba mu 500 kyokka nga zimuwa amata okutuuka mu  liita 20 okutwaliza awamu buli emu olunaku. “Waliwo okusitulwakw’omutindo gwa ffaamuokwetooloola eggwanga era  ng’olaba nti, abalimi n’abalunzibakikola nga bizinensi kyokka alina okusoomoozebwa okw’enjawulo okwetaaga  okukolebwako.
Olw’okuba abalimi n’abalunzi  abasinga bali mu byalo, okumu ku kusoomooza kwe balina kwa nguudo embi ezikalubya eby’okutambuza bye baggya ku faamu zaabwe okubitwala ku katale, bbeeyi y’ebikozesebwam ekyukakyuka, ebikozesebwa eby’ebicupuli.
Waliwo omulunzi w’ente e Luweero akama liita z’amata ezisoba mu 3,000 buli lunaku  kyokka nga talina masannyalaze era asaasaanya okusoba mu 100,000/- ku mafuta gokka buli lunaku okukozesa ekyuma ekigannyogoza,” Byaruhanga  bw’agamba Polof. Ogenga agamba nti, ebibiina by’obwegassi bikyalina  okusoomoozebwa ky’okufuna ssente ku   magoba amatono, okufuna ebikozesebwa ebituufu ku bbeeyi entono, okufuna obutale obulungi n’enkwata ya ssente okutwaliza awamu. Abawanguzi b’empaka z’omwaka  guno baakulangirirwa nga December 9, ku mukolo ogunaabeera ku kitebe kya
kkampuni ya Vision Group olwo batwalibwe e Budaaki omwaka  ogujja okulambula n’okuyigira ku balimi n’abalunzi Abadaaki.

Tags: