Man City eneggyako ekikwa mu Champions League
Apr 28, 2021
EMYAKA Man City gy’emaze ng’eri mu nsiike y’omupiira, tewangulangako kikopo kya Champions League. Ku luno eneggyako ekikwa?
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Leero Lwakusatu mu Champions League
PSG - Man City, 4:00 (ekiro)
Omutendesi agitendeka kati, Pep Guardiola ekikopo kino yali akiwanguddeko ng’ali mu Barcelona kyokka bukya yeegatta ku Man City mu 2016, takiwangulangako.
Leero, bakyalidde PSG ku semi ya Champions League nga nayo (PSG), ekikopo ekyagala. Mu Premier, Man City y’eri ku ntikko nga n'ensiike eno agenze okutuuka nga yaakamala okuwangula ekikopo kya EFL Cup omulundi ogwokuna ogw’omuddiring’ana.
Abazannyi ba Man City
Mauricio Pochettino, ye mutendesi wa PSG kyokka mu sizoni ya 2018/19, yatuusa Tottenham ku fayinolo ya Champions League naye Liverpool n’ebawangulirako. Ku luno naye azze awaga, nti ekikopo akyagala wabula okukitwala, alina kuyita ku Man City ku semi.
Guno mulundi gwakuna nga ttiimu zino (PSG ne Man City) zisisinkana okuva mu 2008. PSG, tekuli gw’ewangudde.
Bagikubye gumu, emirala bagudde maliri. Mu April 2016, lwe zaasemba okusisinkana mu kikopo kino, Man City yawangula ku ggoolo 1-0.
No Comment