Ssimbwa alaalise Wasswa Bbosa
May 03, 2021
OMUTENDESI wa URA FC Sam Ssimbwa alaalise Wasswa Bbosa okumukuba awabi mu mpaka za Stanbic Uganda Cup enkya ku Lwokubiri e Ndejje.

NewVision Reporter
@NewVision
URA edding’ana ne Express mu luzannya Olwokubiri era Ssimbwa yagumizza nnyo abawagizi be nti bagenda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga bawandula Express mu kikopo kino. Sam Ssimbwa ku ddyo ng'awayaamu ne Ronald Kigongo ku kkono Ibrahim Dada ku ddyo ng'attunka ne Mahad Yaya Kakooza ku kkono
Wasswa Bbosa ng'awa ebiragiro
Mu butuufu omupiira twagwefuga ebitundu byonna wabula ddiifiri n’agwonoona era nsuubuza abawagizi nti Express eri ttale kuba twetaaga ggoolo emu yokka okugenda ku luzannya oluddako.
No Comment