Wasswa Bbosa ayungudde ttiimu kabiiriti
May 05, 2021
OLUVANNYUMA lwa ddiifiri Mashood Ssali okukkomonta ffirimbi esembayo,omutendesi wa URA Sam Ssimbwa yawotokeredde ku kisaawe ky'e Ndejje University okuwanduka mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup.

NewVision Reporter
@NewVision
Ng’omupiira tegunnatandika,ekisaawe kya Ndejje University URA mwe kyaliza kyabadde kijjudde amazzi era kyatutte essaawa nnamba ng’abakozi bakirongoosa era omupiira ogwabadde gulina okutandika ku 10:00 gwatandise 10:20. Patrick Mbowa ku ddyo ng'ayita ku Charles Musiige ku kkono
Amazzi nga gasazeeko ekisaawe
Obwedda Bbosa ali ku puleesa ng’amazzi anywera kumukumu olw’ennumba abawuwuttanyi ba URA ze babadde bakola era okukkakkana ng’omupiira gukomekerezeddwa mu maliiri ga 0-0 ne beesogga Kwota fayinolo.
Wasswa Bbosa ng'asanyuka n'abazannyi be
No Comment