Bbosa aboggodde

Apr 26, 2021

OLUVANNYUMA lw’okumegga Vipers FC ku Lwokutaano wiiki ewedde,Wasswa Bbosa yawaze nga bwe yazze mu kuvuganya ku kikopo kya Startimes Premier League sizoni eno olw’obubonero busatu bwe bajje e Kitende.  

NewVision Reporter
@NewVision

Guno gwabadde mulundi gwa Express ogusookera ddala bukya bassaawo ekiwempe e Kitende okumegga Vipers kuba buli lw’ebadde ekyala awo nga bakuba nkube. 

Abazannyi ba Express nga bajaganya ggoolo ya Charles Musige ow'okusatu okuva ku kkono,Godfrey Lwesibawa,Isa Lumu,Eric Kambale,Arthur Kiggundu ne George Ssenkaaba ku ddyo

Abazannyi ba Express nga bajaganya ggoolo ya Charles Musige ow'okusatu okuva ku kkono,Godfrey Lwesibawa,Isa Lumu,Eric Kambale,Arthur Kiggundu ne George Ssenkaaba ku ddyo

Ku Lwokusatu Express ekyaza Onduparaka e Wankulukuku omupiira gw’eyagala okuwangula obuwanguzi okudda mu kyokubiri n’obubonero 43. Ffoomu ya Express ebadde eddiridde nnyo era obuwanguzi bwe yafunye ku Vipers yazizza Bbosa engulu okuddamu okuwangula emipiira. 

Wasswa Bbosa

Wasswa Bbosa

Ssinga Bbosa amegga Onduparaka ku Lwokusatu, waakusula mu ky’akubiri nga yenkana ne Vipers obubonero 43.URA FC y’ekulembedde ekimeeza n’obubonero 44. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});