Bul FC etadde ekigere ekisooka ku 'Quarter' za Uganda Cup

May 06, 2021

OMUTENDESI wa Kigezi Home Boyz eya Big League Mark Twinatsiko mugumu nti ggoolo y’okubugenyi gye yafunye nga bakubwa Bul (2-1) yaakumuyamba nnyo okulandirako okwesogga ‘quarter’ z’empaka za Stanbic Uganda Cup.

NewVision Reporter
@NewVision

Mu Stanbic Uganda Cup

BUL 2-1 Kigezi Home Boyz

Leero(Lwakusatu)

Mbale Heroes - Proline, Mbale

Eggulo (Lwakusatu May 5, 2021) omutendesi omuggya owa Bul FC Alex Isabirye yatandise na buwanguzi ku mupiira gwe ogwasoose ng’akuba Kigezi Home Boys (2-1) mu kisaawe kya Kyabazinga e Bugembe n’ateeka ekigere ekisooka ku luzannya lwa ‘quarter’ z’empaka za Stanbic Uganda Cup.Robert Mukongotya owa Bul FC mu kutendekebwa

Robert Mukongotya owa Bul FC mu kutendekebwa

Wabula ye Twinamatsiko eyakubiddwa yeegumizza nga ggoolo gye baafunye ku bugenyi bw’egenda okubeeyimirira ennyo okuwandulamu Bul mu gw’okudding’ana ku wiikendi e Kabaale nga banoonya eyeegatta ku ttiimu endala 7 ezaamaze edda okwesogga ‘quarter’.Abazannyi ba BUL nga basanyukira ggoolo

Abazannyi ba BUL nga basanyukira ggoolo

“Obuwanguzi twazze tubwagala naye ate n’eggoolo y’okubugenyi kyabadde kimu ku bigendererwa byaffe, kituufu tetwawangudde naye ate awaka tusobola okukyusa oluyimba era tuli bagumu nti tujja kwesogga ‘quarter’,” Twinamatsiko bwe yategeezezza.

Richard Wandyaka ne Musa Esenu be baateebedde Bul ate Denis Mboowa n’akubagiza Kigezi ggoolo emu yokka gye baafunye ku bugenyi.

 

Ttiimu ezimaze okwesogga ‘Quarter’ kuliko;SC Vipers, Express FC, Wakiso Giants FC, Police FC, KCCA FC ne SC Villa. Proline ne Mbale Heroes baawukana leero(Lwakuna) e Mbale mu gw’okudding’ana. Oluzannya olwasooka Proline yawangula (2-1) e Lugogo.

 



Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});